Hymn 348: EKIRO NGA NEEBASE Lyrics

Oluyimba 348: EKIRO NGA NEEBASE Lyrics

 

OLUYIMBA 411: KATONDA Y’AKUUMA ABAANABE
1
MU nsi-engimu-eyajjula-eby’obugagga,
Katonda y’akuuma-abaana be;
Emigga gy’amazzi egy’obuwangwa
Gye gibanywesa-abantu be.

Entiisa bw’ejja,ab(a) entalo,
Abantu bafa n’obwavu n’enjala;
Emmund(u) ez’amaanyi nga zivuga;
Kyokka Mukama ng’al(i) awo naffe.

2
Mu ddundiro-eddungi ery’obuwangwa,
Katonda y’alunda-abaana be;
Era-ekiro twebaka mu kiwonvu;
Era Katonda y’akuuma.

Entiisa bw’ejja,ab(a) entalo,
Abantu bafa n’obwavu n’enjala;
Emmund(u) ez’amaanyi nga zivuga;
Kyokka Mukama ng’al(i) awo naffe.

3
Wadde ebibi bingi ebitulumba,
Katonda y’akuuma abaana be;
Amaanyi ge n’ekisa bitukuumye;
Katonda ye Mulokozi.

Entiisa bw’ejja,ab(a) entalo,
Abantu bafa n’obwavu n’enjala;
Emmund(u) ez’amaanyi nga zivuga;
Kyokka Mukama ng’al(i) awo naffe.

4
Fenna tuyimbe,tusuute Kitaffe;
Katonda akuumye abaana be;
Nga tumanyi tuligenda eyo gy’ali
Katonda ng’atwala abaana.

Entiisa bw’ejja,ab(a) entalo,
Abantu bafa n’obwavu n’enjala;
Emmund(u) ez’amaanyi nga zivuga;
Kyokka Mukama ng’al(i) awo naffe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *