Oluyimba 335: YESU BYONNA ABIMANYI Lyrics
OLUYIMBA 40: MU KIBUGA KYA DAWUDI
1
MU kibuga kya Dawudi
Eky’e Beesirekemu,
Omwazaalirwa Omwana,
Mu kiraalo eky’ente;
Omwana-oyo ye Yesu;
Nnyina ye Maliyamu
2
Ye yakka mu nsi ku lwaffe,
Ye Mukama wa byonna;
Yabeeranga n’abakopi,
Mu kyalo-ekinyoomebwa;
Yakwananga-abanaku,
N’asembezanga-ababi
3
Yesu mu buto bwe bwonna,
Yalinga muwombeefu;
Yayagalanga nnyo nnyina,
Ne bakulu be bonna;
N’abaana bonna mu nsi
Bakolenga bwe batyo
4
Edda tulirabagana, Olw’okwagala-okungi,
Kubanga Omwana oyo,
Ye Mukama wa byonna,
Alituusa-abaana be
Mu ggulu,babe naye.
5
Tetukyamulaba nate
Mu kiraalo eky’ente;
Tulimulaba mu ggulu,
Ng’atudde ne Katonda.
Naffe tulibeera-eyo,
Nga tumutendereza.
Leave a Reply