Oluyimba 332: NNINA-OMUKWANO GWANGE,YE Lyrics
OLUYIMBA 398: MU NZIKIZA EKUTTE NKUKAABIDDE
1
Mu nzikiza ekutte nkukaabidde
Era,ayi,Mukama,onoowulira;
Kale,amatu go galowooze nnyo
Eddoboozi lyange.
2
Bw’onobalanga ng’omulamuzi
Ebitali bya butuukirivu,
Omuntu-aliyimirira-ali wa
Mukama wange?
3
Naye-onoosonyiwanga abantu bo
Bwe ntyo nnindirira Mulokozi
Era-emmeeme yange-ekwesiga
-Eyaayaanira ggwe.
4
Ggwe,Isiraeri,Suubiranga ye
Awali ye wali-okusaasira;
Era anaanunulanga bantu be
Mu nnaku zaabwe.
Leave a Reply