Oluyimba 316: OTUKULEMBERE Lyrics
OLUYIMBA 383: WAALIWO EDDA OMUWALA:YALAGULWA BANNABBI
1
WAALIWO edda omuwala:yalagulwa bannabbi
Okuzaala-omulokozi nga olwa leero,
Atulokole mu bibi era ne mu kufa
Adamu-bye yatusuulamu-mu kusooka kw’ensi
Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze,
Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero.
2
Mu Beserekemu e Buyudaaya,
Malyamu yagenda awamu ne Yusufu
N’abantu-abalala bangi okwewandiisa
Nga bwe baalagirwa Kayisaali Agusito.
Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze,
Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero.
3
Naye bwe baatuka mu kibuga omwo
Ne basanga nga kijjudde abantu bangi;
Malyamu ne Yusufu baali baavu nnyo
Ne batafuna bulungi kifo eky’okusulamu;
Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze,
Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero.
4
Ne bamala gasula mu kisibo ky’ente
Ne beebeka mu nju omwo-ensolo nga mwe ziri
Naye tebanyooma wabi watyo;
Bw’atyo Omulokozi bwe yazaalibwa
Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze,
Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero.
5
Abasumba Katonda yabatumira
Nga balunda ebisibo ku ttale-ekiro,
Malayika n’agamba nti,Musanyuke nnyo
Kubanga Omulokozi azaaliddwa leero.
Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze,
Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero.
6
Amangu ago abasumba ne balaba mu bbanga
Okwolesebwa kwa bamalayika,
Bayimba n’essanyu,ntiEkitiibwa kibe
Eri Katonda waggulu,Emirembe mu bantu:
Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze,
Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero.
Leave a Reply