Oluyimba 309: TWETAAGA YESU: YESU,SO SI MULALA Lyrics
OLUYIMBA 377: KATONDA OW’OKWAGALA
1
KATONDA ow’okwagala,
Kitaffe ow’emirembe;
Aggyawo mu nsi entalo,
Tuwe nate-emirembe gyo.
2
Sso tewali kiddukiro
Wabula mu mikono gyo;
Tuwonye ffe abaana bo,
Tuwe nate-emirembe gyo.
3
Ojjukire,Ayi-Mukama,
Emirembe gyo egy’edda;
Bajjajja gye baategeeza,
Tuwe nate-emirembe gyo.
4
Tuwe naffe twagalane,
Ng’abo-abali-awamu naawe;
Abakusuuta mu ggulu;
Tuwe-emirembe-egitaggwaawo-.
Leave a Reply