Hymn 299: YESU WANFIIRIRA MU KWAGALA KWO Lyrics

Oluyimba 299: YESU WANFIIRIRA MU KWAGALA KWO Lyrics

 

OLUYIMBA 368: AMAZE-OMULIMU GWE
1
AMAZE-omulimu gwe
Alwanye-olutalo lwe;
Avudde mu mayengo,
Yeesiimye-okuwunguka.
Kitaffe tuwaayo gy’oli,
Omwana w(o) eyeebase

2
Eyo teri kukaaba;
Awonye-ennaku-ez’ensi;
Atuuse mu maaso ge,
Oyo eyatonda-ensi.
Kitaffe tuwaayo gy’oli,
Omwana w(o) eyeebase

3
Eyo-amaanyi g’okufa
Tegakyamutuutako;
Omununuzi gy’ali
Eyawangula-okufa
Kitaffe tuwaayo gy’oli,
Omwana w(o) eyeebase

4
Naffe-abasigaddewo
Tulinda nnyo n’essuubi;
Okumulaba Yesu,
Ku lunaku-olwentiisa.
Kitaffe tuwaayo gy’oli,
Omwana w(o) eyeebase

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *