Hymn 298: MUKAMA,NZE NNINA-EBIBI Lyrics

Oluyimba 298: MUKAMA,NZE NNINA-EBIBI Lyrics

 

OLUYIMBA 367: OMULOKOZI WAFFE
1
OMULOKOZI waffe
Ekisa kyo kingi;
Wansanyusa-abalwadde
Bwe wabeera mu nsi.
Kaakano ffe tuutuno
Mu nnaku nnyingi nnyo;
Mu kwagala kwo-okungi
Otega-amatu go

2
Ffe-abakumggaanye wano
Twetaaga-ekisa kyo;
Kubanga mu mibiri
Naye Katonda waffe
Bw’otuula gye tuli,
Endwadde zaffe zonna
Zinaafuuka-amaanyi.

3
Jjangu-,otubeere Yesu,
Tuleme okutya;
Newankubadde-okufa
Bwe kunaatujjira;
Kuba Mukam waffe
Wawangula-okufa:
Eri abeesigwa be
-Okufa kwe kwebaka

4
Bwe tunaalaba-ennaku
Ffe tunaakwesiga;
Tunaalwana bulungi
Ng’abaweereza bo.
Ka tugume emyoyo
Tunywereze ddala.
Taaleme kutubeera,
Ku lw’obuyinza bwe.

5
Edda twalaba-ennaku
Ezaatuluma-ennyo
Kaakano-essanyu lyokka
Yesu,-olw’ekisa kyo;
Netuweebwa ku lulwo
Obutuukirivu;
Ayi-Omusawo waffe,
Mukama tolwawo.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *