Hymn 271: KATONDA EYANTONDA NZE Lyrics

Oluyimba 271: KATONDA EYANTONDA NZE Lyrics

 

OLUYIMBA 342: KIKAKAFU NNYO,YESU WANGE
1
KIKAKAFU nnyo,Yesu wange;
Ekitiibwa kye akimpadde:
Omwoyo we Omutukuvu
Yannaazaako ebibi byange.

Ndi musika omununule
Ndi wa mu kika ky’abaana be;
Kino kinnyimbisa n’essanyu
Nga ntenderez(a) Omulokozi.

2
Lituukiridde-essanyu lyange;
Anjolesezza-eby’omu ggulu:
Bamalayika abatumye
Okutegeeza-okwgala kwe.

Ndi musika omununule
Ndi wa mu kika ky’abaana be;
Kino kinnyimbisa n’essanyu
Nga ntenderez(a) Omulokozi.

3
Sibuusabuusa,neewaddeo;
Bwe mba ne Yesu mba mirembe:
Nze nindiridde-eby’omu ggulu
Okwagala kwekube mu nze.

Ndi musika omununule
Ndi wa mu kika ky’abaana be;
Kino kinnyimbisa n’essanyu
Nga ntenderez(a) Omulokozi.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *