Oluyimba 270: YESU KINO KYE NJAGALA Lyrics
OLUYIMBA 341: JJO NE LEERO N’OKUTUUSA
1
JJO ne leero n’okutuusa
Emirembe gyonna,Yesu
Aba bumu.
2
Kye kiddukiro-eky’amaanyi
Mwe tuwummulira fenna
Nga tukooye.
3
Edda twabula,twatuula
Mu kizikiza-ekikutte,
Yatunoonya.
4
Yatunoonya mu lukoola
Mwe twabulubuutiranag,
Nga tubula.
5
N’atuleetera-obulamu,
N’atutikkula-omugugu,
Gw’ebyonoono.
6
Ebibi bye twakolanga.
Yesu abinaaza byonna,
Mu musaayi gwe.
7
Anaatutuukirizanga
Era-alitutuusa-ewuwe,
Mu mirembe,
8
Yesu Mulokozi waffe,
Mukama w’abantu bonna,
Tukusuuta.
Leave a Reply