Oluyimba 268: YESU EYASOOKA Lyrics
OLUYIMBA 34: MMWE MWENNA-ABALONDE
1
MMWE mwenna-abalonde,
Mujje musanyuke
Mujje tugende e Beesirekemu,
Gy’azaaliddwa Omwana wa Katonda
Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze Mukama.
2
Katonda, Katonda;
Ye musana gwa nsi:
Teyagaana kufuuka omuntu;
Katonda ddala,-Omwana si mutonde.
Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze Mukama.
3
Mmwe mwenna muyimbe,
-Ennyimba ez’-amatendo,
Ab’omu ggulu mumuyimbire;
Musuute Yesu,mumutendereze.
Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze Mukama.
4
Tukulamusizza
Eyazaalwa leero:
Yesu Mukama, tukusinza ggwe:
Katonda ddala,watwala-omubiri.
Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze,
Mujje nno tumweyanze Mukama.
Leave a Reply