Oluyimba 254: TEMUSOOKANGA KUNOONYA Lyrics
OLUYIMBA 327: YESU MUKAMA WANGE
1
YESU Mukama wange,
Neesiga-amaanyi go;
Sitya balabe bange
Ne bwe bannumba.
Bw’onkuuma-ennyo-olw’ekisa,
Siriiko kye ntidde;
Mu ngalo za Kitange,
Mwe mpummulira.
2
Ssetaani bw’aba-annumba
N’ettima lye-eringi;
Buli lw’ajja-okunnumba
Nenziramu bwe nti:
Weegendere Ssetaani,
Yesu yakusinga;
Nali nkusenze edda,
Ne nkusenguka.
3
Omulokozi Yesu,
Tewali ayinza
Okutusikula ffe
Mu mikono gyo;
Alituloopa ye-ani?
Ggwe watununula;
Wawangula Ssetaani,
Tetukyamutya.
Leave a Reply