Hymn 242: MUJJE-ERI YESU, TEMULWAWO Lyrics

Oluyimba 242: MUJJE-ERI YESU, TEMULWAWO Lyrics

 

OLUYIMBA 316: OTUKULEMBERE
1
-OTUKULEMBERE
Mu kkubo lyaffe;
Yesu tujja kwanguwako
Okukugobereranga;
Kwata-omukono
-Otutuuse-ewuwo!

2
Mu buyinike
Ka tugumenga
Newankubadde nga tuli
Mu kabi kanene katya,
Tujjukirenga
Ggwe watusooka.

3
Bwe wanajjanga,
-Ekigambo kyonna
Ekirumya-emyoyo gyaffe
Ekimalamu amaanyi,
Yimusa-amaaso
Tukulabenga.

4
Tulongooseze
-Olugendo lwaffe;
Tulagirirenga-ekkubo,
Tuwe-entanda y’omu mwoyo,
N’oluvannyuma
-Otutuuse-ewuwo.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *