Hymn 240: WULIRA MU LUYOOGAANO Lyrics

Oluyimba 240: WULIRA MU LUYOOGAANO Lyrics

 

OLUYIMBA 314: MUJJE MWEKKA KYAMA MUWUMMULE
1
MUJJE mwekka kyama muwummule,
Nange,mu kifo eteri bantu,
Emitawaana gibayinzeeko,
Oluyoogaano lubakooyezza.

2
Muleke byonna-ensi by’yagala,
Munoonye-ebitanoonyezeka nsi,
Awamu nange-era ne Kitange
So temuli mwekka,tuli nammwe.

3
Mumbuulire byonna bye mukola,
Bye mwogera-era bye muwangula,
Mu nnaku zammwe bwe mulemeddwa,
Bimanyibwa-Atakisika byama.

4
Ekkubo lya wala,muwummule,
Olugendo lunaabazirisa;
Mutoole-emmere-eva gye ndi mulye,
-Amazzi ag’obulamu muganywe.

5
Ate mudde ku mirimu gyammwe,
Muli banafu,naye ndi nammwe;
Omwesigwa-aliweebwa-empeera ye,
Njija mangu emmambya esaze.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *