Hymn 216: LWANANGA MU LUTALO LWO Lyrics

Oluyimba 216: LWANANGA MU LUTALO LWO Lyrics

 

OLUYIMBA 293: KAAKANO TWEBAZA
1
KAAKANO twebaza,
Katonda-ow’emirembe
Eyatukolera
Ebitusanyusa ffe;
Okuva mu buto
Yatuwa omukisa;
Era-ebirabo bye
Tebitegeezeka.

2
Katonda ow’ekisa
Weemale-emyoyo gyaffe;
Tuwe-emirembe gyo
Beeranga kumpi naffe,
Otulung’amyenga
Mu kkubo ly’obulamu;
Ffe naawe mu ggulu.
tusanyuke fenna.

3
Tweyongere fenna
Okwebaza Katonda,
Kitaffe,n’Omwana,
N’-Omwoyo Omutukuvu,
Abeererawo-wekka,
Tukuvuunamira,
Ggwe asinzibwa bonna
Mu nsi ne mu ggulu.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *