Oluyimba 215: OLWAZI KWE YAZIMBA KATONDA-EKKANISA Lyrics
OLUYIMBA 292: KATONDA TUKUTENDA GGWE
1
KATONDA tukutenda ggwe;
Tukkiriza-obukama bwo;
Aleruuya! Aleruuya!
Ayi Kitaffe ataggwaawo,
Ensi zonna zikusinza:
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
2
Abakukoowoola ennyo,
Be bamalayika bonna:
Aleruuya! Aleruuya!
Basseraafi,Bakkerubi,
N’obuyinza-obw’omu ggulu:
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
3
Mutukuvu,Mutukuvu,
Mutukuvu,Omugabe;
Aleruuya! Aleruuya!
Mukama ow’egye lyonna,
Kitiibwa kyo kyala wonna.
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
4
Ekibiina-ekya batume
Ekyayatiikirira-ennyo:
Aleruuya! Aleruuya!
Ab’ekibiina-ekirungi
Ekya Banabbi ab’edda:
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
5
Abattibwa ku lwa Yesu
Nabo bayimba-ettendo lye:
Aleruuya! Aleruuya!
Ekkanisa entukuvu
Mu nsi zonna ekwatula:
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
6
Kitaffe ggwe-omukulu-ennyo;
Omwana wo ow’ekitiibwa:
Aleruuya! Aleruuya!
N’omwoyo Omutukuvu,
Obusatu-obw’ekitiibwa:
Aleruuya! Aleruuya!
Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya!
Leave a Reply