Oluyimba 213: MMWE-ENSOZI-EMPANVU-ENNYO Lyrics
OLUYIMBA 290: YESU-AMANYI BWE MBEERA
1
YESU-amanyi bwe mbeera
N’ebirowoozo byonna
N’obunafu bwange-era,
Byonna ye abimanyi.
2
Ng’omuzadde w’omwana
Bw’asaasira-omwana we,
Yesu bw’asaasira nze
Mu-ebyo byonna bye nkola.
3
Yesu fenna-atwagala
Abakulu n’abato;
Anaatusonyiwanga
Bwe tuba twenenyezza.
4
Weenenye ggwe-omwonoonyi
Ye anaakusonyiwa;
Omusembeze gy’oli
Mwenenyereze ddala.
5
Ojja kulokolebwa
Mu bibi byo-ebyo byonna;
Teweeraliikirira,
Ali kumpi nnyo naawe.
Leave a Reply