Oluyimba 211: KATONDA WAFFE,WA KISA, WA MAANYI Lyrics
OLUYIMBA 289: YESU YAJJA ALOKOLE
1
YESU yajja alokole
Abalina-ebibi:
Naffe fenna aboonoonyi
Anaatusonyiwa.
Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene,
Ne ndaba-essanyu lingi nnyo,
Kubanga ndokose.
2
Tegwatuyiikira-omusaayi-
Ogusinga byonna?
Tewali gw’atayinza ye
Okulongoosa-ennyo.
Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene,
Ne ndaba-essanyu lingi nnyo,
Kubanga ndokose.
3
Tetuyinza ffe-okwetuusa
Mu ggulu n’akamu:
Mu kifo-ekyo mulituuka
Abatuukirivu.
Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene,
Ne ndaba-essanyu lingi nnyo,
Kubanga ndokose.
4
Naye bwe tumukkiriza
Katonda Kitaffe
Atulaba ng’abalina
Obutuukirivu.
Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene,
Ne ndaba-essanyu lingi nnyo,
Kubanga ndokose.
5
Mukale mumukkirize
Muweebwe-obulamu:
Kubanga Yesu tagoba
Mu maaso ge n’omu.
Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene,
Ne ndaba-essanyu lingi nnyo,
Kubanga ndokose.
Leave a Reply