Oluyimba 210: BULI MUNTU YENNA AWULIRE Lyrics
OLUYIMBA 288: ABAALUMWA-EMISOTA-ABAYISIRAYIRI
1
ABAALUMWA-emisota-Abayisirayiri.
Mu lukoola bwe baatambula;
Buli muntu yawona eyatunnuulira
Omusota ogwo ku muti.
Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu:
Munaawona kaakano mwenna.
2
Temulwa,mumutunuulire Mulokozi,
Mmwe mwenna abalumwa-ebibi:
Munaawona mwenna bwe mukkiriza Yesu,
Eyatufiirira ku muti.
Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu:
Munaawona kaakano mwenna.
3
Naye ku lw’ebikolwa ebituukirivu,
Temuyinza kulokolebwa:
Abisiima Katonda,naye tebiyinza
Kutuggyako-omusango gwaffe.
Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu:
Munaawona kaakano mwenna.
4
Naye ku lw’okufa kwe ku muti ku lwaffe
Tulibera-abalamu mu ye;
Tulisanyuka bwe tusonyiyibwa-ebibi,
Ne tutuuka mu ggulu fenna.
Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu:
Munaawona kaakano mwenna.
Leave a Reply