Oluyimba 187: MUMUTENDE YESU-OMUNUNUZI WAFFE Lyrics
OLUYIMBA 267: KATONDA-ONSEMBEZE
1
KATONDA-onsembezw
Kumpi naawe,
Ne bwe ndikwatibwa
-Obuyinike.
Neeyongerenga-era
Okusemberera
-Okumpi naawe.
2
Obudde-obw’obulamu
Buwungeera:
So siraba n’omu
Anambeera,
Nga nkwegayirira
Olw’ekyo,sembera
-Okumpi nange.
3
Kale-okwolesebwa
Kuve-eri ggwe;
Era-awalinnyibwa
Walabike.
Nga bamalayika
Bampenyezza-okujja
-Okumpi naawe
4
Kyenva nsanyukira
Ekisa kyo,
Kubanga-owulira
Omuddu wo
Katonda tondeka,
Nga mbulubuutira
-Ewala naawe.
5
Edda ndiyingira
Wa Kitange;
Nga nkomekkereza
-Emgendo zange.
Ekirinsanyusa
Yesu,kubeerera
-Awamu naawe.
Leave a Reply