Oluyimba 175: YESU,SSANYU LYANGE Lyrics
OLUYIMBA 256: AYI YESU-OW’EKISA
1
AYI Yesu-ow’ekisa
Ggwe bulamu-obw’abantu,
Omutonzi wa byonna,
Otuwulire.
2
Ebibi bwe byabunya
Ku bantu bonna-okufa
Ggwe eyabalokola,
Otusonyiwe.
3
Ggwe-eyalinnya mu ggulu
-Okulya-obwakabaka bwo,
Mukama w’abakama,
Otuwulire.
Ggwe-olikomawo nate
Okusala-omusango
Gw’abalamu n’abafu,
Otulokole
Leave a Reply