Oluyimba 174: YESU, GGWE-OLI SSANYU LYAFFE Lyrics
OLUYIMBA 255: MU NSI Y’ABAGENYI
1
MU nsi y’abagenyi,
Gye wagenda ggwe,
Wulira-eddoboozi
-Enkuyita:
Komaw(o) omutambuze
Komawo mangu,
Ggwe wakyamira ddala,
Naye jjangu.
2
Enjala-ey’omwoyo
Ekuluma nnyo
Tolina mukwano,
Oli muyi.
Komaw(o) omutambuze
Komawo mangu,
Ggwe wakyamira ddala,
Naye jjangu.
3
Ebibi byo byonna
Lekera ddala,
Gye ndi kye kitiibwa,
N’essanyu nnyo.
Komaw(o) omutambuze
Komawo mangu,
Ggwe wakyamira ddala,
Naye jjangu.
4
Oluggi luggule,
Okyali wange,
Tojja kugobebwa,
Siikunyoome.
Komaw(o) omutambuze
Komawo mangu,
Ggwe wakyamira ddala,
Naye jjangu.
5
Byonna bye wakola,
Nnakusonyiwa,
Nnakusonyiwa,
Nnawaayo-obulamu
Ne mbiriwa.
Komaw(o) omutambuze
Komawo mangu,
Ggwe wakyamira ddala,
Naye jjangu.
6
Laba-emmeza yange
Etegekeddwa,
Jjangu naakuliisa
Nze-akwagala.
Komaw(o) omutambuze
Komawo mangu,
Ggwe wakyamira ddala,
Naye jjangu.
Leave a Reply