Oluyimba 172: OKWAGALA-OKUTAGGWAAWO Lyrics
OLUYIMBA 253: TWAGALANE;-OKWAGALA
1
TWAGALANE-; okwagala
Kwe kuva-eri Katonda:
Kale,ffe-abooluganda,
Tube nnyo n’okwagala.
Twagalanenga;twagalanenga;
Twagalanenga;Katonda kwagala.
2
Twali tulina-ebibi
Yesu n’afa ku muti:
Oyo gwe yafiirira,
Ffe tunaaakyawa tutya?
Twagalanenga;twagalanenga;
Twagalanenga;Katonda kwagala.
3
Bonna ffe tubaagale,
Twagale-abatukyaye
N’abo abalina-ebibi
Twagalenga bwagazi.
Twagalanenga;twagalanenga;
Twagalanenga;Katonda kwagala.
4
Kale-ekisa mu myoyo
Kyakenga ng’omuliro;
Kyokere ddala byonna
Ebitali bya kisa.
Twagalanenga;twagalanenga;
Twagalanenga;Katonda kwagala.
Leave a Reply