Hymn 167: YESU,GGWE-EYANJAGALA Lyrics

Oluyimba 167: YESU,GGWE-EYANJAGALA Lyrics

 

OLUYIMBA 249: BWE NNALI NGA NEEBAKIDDE DDALA
1
BWE nnali nga neebakidde ddala
Mu tulo twa Ssetaani-otubi,
Nze nawulira eddobbozi lya
Yesu Kristo nga yeeyanjula.

Kale ggulawo,ggulawo,
Ggulawo,ayingire;
Omwoyo gwo gunaasanyuka nnyo
Yesu ng’ayingidde

2
Yesu yansembeza ku mbaga ye,
Ey’okwagala okungi-ennyo.
Ne nsanyuka nnyo okutegeera
Obuganzi obwenkaniddaawo-

Kale ggulawo,ggulawo,
Ggulawo,ayingire;
Omwoyo gwo gunaasanyuka nnyo
Yesu ng’ayingidde

3
Bwe mbeera mu ye,siriko kye ntya;
Ye ngabo,ge mafumu gange;
Ge maanyi gange-agataliggwaawo
Agayinza-abalabe bonna

Kale ggulawo,ggulawo,
Ggulawo,ayingire;
Omwoyo gwo gunaasanyuka nnyo
Yesu ng’ayingidde

4
Omusumba-anwala ku mabbali,
Ag’amazzi ago-amateefu,
Era-omwoyo gwange-agukomyawo,
Nnina-essanyu-eritaliggwaawo-.

Kale ggulawo,ggulawo,
Ggulawo,ayingire;
Omwoyo gwo gunaasanyuka nnyo
Yesu ng’ayingidde

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *