Hymn 166: TULINA-OMUBEEZI WAFFE Lyrics

Oluyimba 166: TULINA-OMUBEEZI WAFFE Lyrics

 

OLUYIMBA 248: ENZIKIZA YALI EBUNYE KU NSI
1
ENZIKIZA yali ebunye ku nsi,
Yesu gwe musana gw’ensi:
Okwaka kwe kungi ne kwaka mu ye;
Yesu gwe musana gw’ensi

Jjangu,laba,gukwakidde ggwe;
gumpoomera nze,gunsanyusa,
Nnali muzibe,leero ndaba
Yesu gwe musana gw’ensi.

2
Abeera mu ye taba mu nzikiza,
Yesu gwe musana gw’ensi,
Tumugoberere-omusana gwake
Yesu gwe musana gw’ensi,

Jjangu,laba,gukwakidde ggwe;
gumpoomera nze,gunsanyusa,
Nnali muzibe,leero ndaba
Yesu gwe musana gw’ensi.

3
Abazibe b’amaaso ab’enzikiza;
Yesu gwe musana gw’ensi;
Mugende munaabe,munaazibuka;
Yesu gwe musana gw’ensi.

Jjangu,laba,gukwakidde ggwe;
gumpoomera nze,gunsanyusa,
Nnali muzibe,leero ndaba
Yesu gwe musana gw’ensi.

4
Mu ggulu,tusoma,teri musana,
Yesu gwe musana gwayo,
Yesu gwe musana ogwakirayo,
Yesu gwe musana gwayo.

Jjangu,laba,gukwakidde ggwe;
gumpoomera nze,gunsanyusa,
Nnali muzibe,leero ndaba
Yesu gwe musana gw’ensi.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *