Oluyimba 164: MUJAGUZE NNO! Lyrics
OLUYIMBA 246: MUJJE MWENNA ABAKOOYE
1
MUJJE mwenna abakooye
N’okutegana kw’ensi,
Yesu ye-anaabaaniriza
N’okusaasira-okungi.
Mujje mwenna!
Abayita temutya.
2
Temutya,newankubadde
Ng’ebibi byammwe bingi.
Ky’abakuutira kye kino-
Mwenenye musonyiyibwe;
Omwoyo we
Ye anaabatukuza.
3
Laba! Omwana wa Katonda
Leero-abawolereza,
Lwa musaayi-gwe munaawona
Bwe mwesigira ddala:
Ekisa kye
Ekirokola kyokka.
4
Abatukuvu be bonna
Bamusinza n’essanyu;
Ab’ensi n’ab’omu ggulu
Bayimba-amatendo ge:
Aleruuya!
Yesu Omulokozi.
Leave a Reply