Oluyimba 163: TETWAKULABA BWE WAJJA Lyrics
OLUYIMBA 245: MUJJE MWENNA,MUJJE GYE NDI
1
MUJJE mwenna,mujje gye ndi
Abakooye-ennyo.
Yesu bwe yagamba bw’atyo
Ab’omu nsi.
2
Yesu mumunoonya? Nedda
Ye-abanoonya mmwe;
Temweteekateeka,mujje
Nga bwe muli.
3
Mumuganye,munaalaba
Bw’anaabakola;
Anaabawonyanga-endwadde
Ez’omwoyo.
4
Omusango gwabasinga?
Abasonyiwa;
Abaggyako-abantu bonna
Ebyonoono
5
Ekisa kye mukigaanyi?
Temukkiriza?
Temumuganya kugenda
Nga-asaaliddwa.
6
Oba-ennaku zammwe nnyingi?
Era mukooye?
Mumwanirize Mukama,
Muwummule.
Leave a Reply