Hymn 161: LABA OMWANA-OMUTO Lyrics

Oluyimba 161: LABA OMWANA-OMUTO Lyrics

 

OLUYIMBA 243: MUJJE MWENNA-ABAKOOYE
1
MUJJE mwenna-abakooye
Nze naabawummuza:
-Eddoboozi nga lya kisa
Ery’Omulokozi:
Litutegeeza bw’ali
Ow’ekisa kyonna,
Bw’ayagala-okuwonya
Emyoyo gy’abantu

2
Mujje mwenna-abakyamye
Nze naabamulisa:
-Eddoboozi nga lya ssanyu
Mu nzikiza-ekutte.
Mu nsiko ey’omu nsi
Twali tuwabye nnyo,
Mu kkubo lye yatuzza,
Ffe ne tusanyuka

3
Mujje mwenna-abafudde
Naabawa obulamu-:
-Eddoboozi lye lya manyi,
Lituzzaamu-omwoyo.
Entalo zaffe nzibu;
-Omulabe mukambwe;
Amaanyi g’okulwana
Gava eri Yesu.

4
Era-anajjanga gye ndi
Nze siimugobenga:
-Eddoboozi lya Mukama
Lye litugumya-ennyo:
Ekisa-ekyenkanaawo
Tewali-asaanidde,
Ye ye-atusembezezza
Kale tumwebaze

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *