Oluyimba 160: YESU YE YAVA MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 242: MUJJE-ERI YESU, TEMULWAWO
1
MUJJE-eri Yesu,temulwawo,
Atudde mu ffe wano leero,
Fenna-atuyita-okusembera;
AyogeraMujje.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy’oli.
2
Mujje abazitoowereddwa,
Mwenna abakooye n’ebibi:
Mujje mwenna naabawummuza
Mujje mwenna gye ndi.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy’oli.
3
Abantu bonna kiyinzika
Leero-okusonyiyrwa ddala;
Kuba-ebibi by’abakkiriza
Byatwalibwa Yesu.
Ye atwagala,atwagala;
Ye atwagala aboonoonyi;
Era yajj(a) okutufiirira,
Ffe tutuuke gy’oli.
Leave a Reply