Oluyimba 156: EWALA MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 239: MWOYO GWANGE, WULIRA
1
MWOYO gwange,wulira,
Yesu Mulokozi wo;
Akubuuza ggwe bw’ati:
Mwana wange-onjagala?
2
Nze nakuggya mu nvuba;
Ne nnyiga-ebiwundu byo;
Ne nkuzuula ng’obuze;
Ne nzibula-amaaso go.
3
Nnyina ki-atajjukira
Bulijjo omwana we?
Ye yeerabira-omwana:
Naye siirekenga ggwe.
4
Bulijjo nze nkwagala;
Naabeeranga naawe nze;
Mu bulamu, mu kufa,
Mu magombe,mu ggulu.
5
Bwe ndiba nkuwonyezza
Oliraba-ettendo-eryo;
Oliba wamu nange;
Mwana wange-,onjagala?
6
Mulokozi,gunsinze;
Nnali nga sikwagala:
Naye leero mpa ekisa,
Nnyongere kukwagala.
Leave a Reply