Hymn 153: ALERUUYA! MUMWEBAZE Lyrics

Oluyimba 153: ALERUUYA! MUMWEBAZE Lyrics

 

OLUYIMBA 236: OMUZIBE W’AMAASO EDDA
1
-OMUZIBE w’amaaso edda
Eyali ng’asabiriza
N’awulira-abantu bangi
N’ababuuza nti Ekyo ki?
Bonna ne bamubuulira,
Yesu Omunazaaleesi.

2
Kiki ekimuyinzisa
Okubavumula bonna?
Si ye mugenyi bugenyi?
Ekibamwagaza kiki?
Laba bwe bayogerera
Waggulu: Yesu ayita.

3
Yesu ye wuuyo eyava
Mu ggulu,okulokola
Abalina-ebibi,n’abo
Abazitoowereddwa-ennyo.
Bali kyebava boogera
Yesu Omunazaaleesi.

4
Bannange mu nnaku zino
Yesu atuyita fenna,
Ng’abuulira abantu be
-Ebirabo by’abaleetedde.
Tewali n’omu-amwenkana
Yesu Omunazaaleesi.

5
Naye bwe muba munyooma
Ekisa-ekitenkanika
Ennaku ziribasanga
Yesu bw’alibagamba nti:
Muve we ndi aboonoonyi,
-Ekiseera kyammwe kyayita

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *