Hymn 148: MUMUTENDE YE Lyrics

Oluyimba 148: MUMUTENDE YE Lyrics

 

OLUYIMBA 231: AWAMU NE YESU,EMIREMBE GYONNA
1
AWAMU ne Yesu,emirembe gyonna
Bwe bulamu bwange nnyini,bwe yampa bwa buwa:
Wansi ndi muyise,Yesu nga taliiwo:
Buli lunaku lwe mmala,mba nsembedde gy’ali.

2
Gy’abeera Kitange,gye ndibeera nange:
Ne nfaanana-okulabayo,olw’okukkiriza:
Ne ndyoka nkaaba nnyo-okutuukayo mangu
Bwe busika bwabwe bonna abeesiga Yesu.

3
Ate nga wambuze; nga-ejjiba lya Nuuwa
Bwe lyaddimgana ku mazzi,nange bwe mba bwe ntyo:
Naye-oluvannyuma,omusana gwaka
Bwe ntyo bwe nsanyuka nnyini, nga ndabyeyo nate

4
Ennaku si nnyingi,kw’alijjira Yesu
Okututwala ewuwe gy’atulongooseza:
Kyevudde njaguza,essanyu linsize
Yesu! awamu ne Yesu emirembe gyonna.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *