Hymn 142: ENKYA BWE NZUUKUKA Lyrics

Oluyimba 142: ENKYA BWE NZUUKUKA Lyrics

 

OLUYIMBA 226: BATUULA MU GGULU
1
BATUULA mu ggulu
Wamu naawe
Abatuukirivu;
Basanyuka.
Bayimba bulijjo,
Tweyanze ekisa kyo,
Ggwe-eyatwagala-ennyo,
Mulokozi.

2
-Omusaayi gwa Yesu
Gwanaaza nnyo;
Ebyambalo e’bya-
Batukuvu.
Kyebava batuula
Wamu naawe,Katonda;
Kyebava bayimba
Ettendo lyo.

3
Ani ayagala
-Okutuuka-eyo?
Jjangu Yesu gy’ali;
Yanguwako.
Anaakusonyiwa,
Taaleme kukkiriza,
Nga bwe yasuubiza,
Mukama wo.

4
Tasingika ddala
Ekisa kye:
Alibalokola
Abantu be.
Asangula-ebibi
N’omusaayi-ogw’amaanyi:
Asinga obubi
Taamuleme.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *