Oluyimba 130: YESU WAKATI MU FFE Lyrics
OLUYIMBA 215: OLWAZI KWE YAZIMBA KATONDA-EKKANISA
1
OLWAZI kwe yazimba Katonda-Ekkanisa,
Ye Mulokozi waffe eyagitukuza,
-Olwamazzi n’ekigambo-,okuba-omugole we;
N’ava mu ggulu,n’akka ku nsi,erokoke.
2
Abantu bonna-ab’ensi bayingira omwo,
Kyebava bagiyita yokka-Ebuna wonna;
Eyatula Mukama omu n’ekkiriza,
-Ekigambo kye, n’etoola emmere-emu yokka.
3
Leero newankubadde enyoomebwa-abantu,
Olw’obukyamu bwamu,n’olw’okwesalamu;
-Abatukuvu beekuuma nga bakukaabira,
Olijja ddi Mukama? tukulindirira.
4
Mu mitawaana gyayo, mu ntalo n’obwowe,
-Emirembe gya Katonda gyo gy’erindiridde;
Terirema kuweebwa bye yagisuubiza,
Ekkanisa erwana n’eryoka-ewummula.
5
Yagattibwa-era ku nsi ne Katonda waffe,
N’esseekimu mu mwoyo n’abo abeebaka,
Baweereddwa n’essanyu;Yesu otuwe ffe,
-Okubeeranga mu ggulu nga bo-awamu naawe.
Leave a Reply