Hymn 111: KA TUTAMBULENGA NABO Lyrics

Oluyimba 111: KA TUTAMBULENGA NABO Lyrics

 

OLUYIMBA 199: TUKWEBAZA KITAFFE
1
TUKWEBAZA Kitaffe,
N’Omwana,n’Omwoyo!
Twebaza-Obusatu,
Tusinza ggwe omu!
Tuyingire ku ggye lyo
-Erya bamalayika
-Okukusuuta-obulungi
Nga bwe kisaanira.

2
Kitaffe ggwe watuwa
Byonna bye tulina.
-Obulamu n’amagezi
N’essanyu lingi nnyo.
Naye-okusinga byonna
Watuwa-Omwana wo,
Okujja nu nsi muno,
Okutulokola.

3
Okwagala kwo Yesu
Kwakwetoowazisa;
Era kwe kwakufuula
Omwana w’omuntu;
Kwe kwakuwaliriza
-Okugumiikiriza
-Okunyoomebwa abantu,
Era n’okutiibwa.

4
Era Katonda-Omwoyo
Naawe tukusuuta,
Eyajja olw’ekisa.
Okututukuza.
Otuwe,Ayi Katonda,
-Amagezi mangi nnyo,
Twatule Obusatu,
Tusinze ggwe omu.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *