Oluyimba 87: KU LUNAKU OLUKULU Lyrics
OLUYIMBA 177: YESU MULOKOZI WANGE
1
YESU Mulokozi wange
Leero nze wuwo wekka;
Omusaayi gwo gunnaazizza,
Yesu Mwana gw’endiga
Tukutendereza,Yesu:
Yesu Mwana gw’endiga;
Omusaayi gwo gunnaazizza,
Nkwebaza,Mulokozi.
2
Edda nafyba bufubi
Okufuna-emirembe;
Leero mmaliridde ddala,
Okweyabiza Yesu.
Tukutendereza,Yesu:
Yesu Mwana gw’endiga;
Omusaayi gwo gunnaazizza,
Nkwebaza,Mulokozi.
3
Nnaababuuliranga-abantu
Obulokozi bwonna,
Obutali bwa kitundu
Obulamba-ob’obuwa.
Tukutendereza,Yesu:
Yesu Mwana gw’endiga;
Omusaayi gwo gunnaazizza,
Nkwebaza,Mulokozi.
4
Nnaategeezanga-ebya Yesu
N’obuvuumu ne sitya;
Eyanzigya mu busibe
N’okuwonya-eyamponya.
Tukutendereza,Yesu:
Yesu Mwana gw’endiga;
Omusaayi gwo gunnaazizza,
Nkwebaza,Mulokozi.
5
Neebaza-eyannunula nze;
Eyamponya wa kisa!
Yesu-ankuuma ansanyusa-era,
Bulijjo yeebazibwe.
Tukutendereza,Yesu:
Yesu Mwana gw’endiga;
Omusaayi gwo gunnaazizza,
Nkwebaza,Mulokozi.
Leave a Reply