Oluyimba 72: TULI BOONOONYI DDALA Lyrics
OLUYIMBA 163: TETWAKULABA BWE WAJJA
1
TETWAKULABA bwe wajja
N’otambula mu nsi yaffe;
So tetwalaba nnyumba yo,
Mu kyalo ekinyoomebwa;
Naye bwe tubiwulira
Tukkirza-era twebaza
2
Tetwakulaba bwe wafa
Ku lwaffe ku musaalaba;
Era ne bwe wakoowoola,
Tetwakuwulira n’omu;
Naye bwe tubirowooza
Twewuunya nga tukankana.
3
Tetwayimirira n’abo
Abaakunoonya mu ntaana,
Oba nabo be wasanga
Mu kkubo nga batambula;
Naye bwe tubiwulira
Tweyanza-era tusanyuka.
4
Tetwaliwo bwe walinnya
Mu ggulu eri Kitaawo;
-Abatume bwe baatunula
Nga beekaliriza-amaaso;
Naye tumanyira ddala
Nti baakulaba ng’ogenda.
5
Era kaakano ng’okufa,
Ffe nga tukulindirira;
Tetulaba kitiibwa kyo;
Okitukwese mu ggulu:
Naye tumanyi ng’olijja
N’ebire mu kitiibwa kyo.
Leave a Reply