Oluyimba 71: BINKOOYESA-EBIBI BYANGE Lyrics
OLUYIMBA 162: GGWE-EYALEKA EKITIIBWA KYO
1
GGWE-eyaleka ekitiibwa kyo
N’ojja-okunfiirira
So ne mu kyalo Beesirekemu
Temwali nnyumba yo;
Wasulanga mu malungu
Ggwe Katonda-eyatonda-ensi!
2
Ebisolo era n’ennyonyi
Byo byalina-ennyumba,
Naye ggwe Omwana wa Katonda
Tewalina kifo;
Mu ddungu ly’e Ggaliraaya
Mmwe wasiiba, mwe wasula!
3
Ekisa kyo Mukama waffe,
Tekikomezeka;
Baakuduulira, ne bakukuba,
Naye n’osirika;
Baakutikkira amaggwa,
Ne bakuttira ku muti!
4
-Olunaku lwo bwe lulituuka
Olw’okudda mu nsi,
Eddoboozi lyo bwe lirimpita
Okuntwala-ewuwo,
Ndibeera n’essanyu lingi
Okukulaba n’amaaso
Leave a Reply