Oluyimba 55: LABA -OMWANA AZAALIDWA Lyrics
OLUYIMBA 148: MUMUTENDE YE
1
MUMUTENDE ye
Mmwe eb’omu bbanga
Ne bakkerubi
-Olw’obutonzi bwe.
Mmwe-eggulu musuute
Eyabatonda;
Mumuvuunamire
Mu bukulu bwe.
2
Mumutende ye
Mmwe ab’oku nsi,
Mukube-ennanga
Mmwe abalonde be.
Mumutende-olwa byonna
Eby’ekisa kye;
Musuute-eyabawa
Okuyimbanga.
3
Mumutende ye
Mmwe ebivuga
-Eby’engeri zonna
-Ez’amaloboozi.
Mukube nnyo-ennanga
Lw’ekitiibwa kye,
Mmwe-ebitaasa mwenna
Mumuwe-ettendo.
4
Mumutende ye
Era mwebaze,
Mu biro byonna
Mumusuutenga;
Eyatwagala-ennyo
N’atununula
Atenderezebwe
-Emirenbe gyonna
Leave a Reply