Hymn 47: KINO KYA KTALO NNYO Lyrics

Oluyimba 47: KINO KYA KTALO NNYO Lyrics

 

OLUYIMBA 140: EBINTU-EBIRUNGI N’EBINTU-EBIKULU
1
-EBINTU-ebirungi n’bintu-ebikulu
Eby’amagezi,n’ebituukirivu;
-Ebintu ebinene n’ebintu-ebitono
Byonna byakolerwa ddala Katonda.

2
Nate-ebigambo ebiri mu kyama,
Bye tulowooza-era ne bye twogera
Bwe tubikisa mu mwoyo-abimanyi
Ebyo-ebikweke,byonna abiraba.

3
-Abantu ba wano n’abantu b’ewala,
-Abantu abasiru n’abantu-abagezi;
-Abaana ba Adanu bonna-abalamu,
Bonna bakuumibwa Yesu Mukama.

4
-Abantu-abgaga n’abantu abanaku,
-Abantu ba wano n’abava-e Bulaaya;
-Abaana b’abaddu n’abaana b’Abaami
Bonna benkana mu maaso ga Yesu.

5
Mu nsi tewali na mwana wa muntu,
Atayagalwa Katonda-Omuyinza;
Bonna abalina-omwoyo-omuwombeefu,
Ogumuwulira,abakkiriza.

6
Kale,tweyanze Katonda-ow’ekisa;
Ffe abanaku twakyama twabula:
Tumweyanze,alokolera ddala
Bonna-abakkiriza Yesu Mukama.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *