Oluyimba 46: EKIRO KYA SSEKUKKULU Lyrics
OLUYIMBA 14: KAAKANO BULI KINTU
1
KAAKANO buli kinyu,
Ensolo n’ebimuli,
N’abantu byebaka:
Otulo tubikutte,
Naye ggwe mwoyo gwange,
Ofumiitirize bino.
2
Eggulu litangaala
Obudde nga buzibye,
-Emmunyeenye ne zaaka;
Katonda bw’alimpita,
Ndigenda mangu gy’ali
Ne ndeka obuyinike.
3
Bitundu byaffe byonna
Byesiima-okuwummula
-Emirimu giwedde;
Bwe gutyo-omwoyo gwange
Edda bwe guliteebwa
Gulijjula emirembe.
4
Bwe twebaka,amaaso
Gabeera nga gazibye,
Nga tetuwulira;
Naye Yesu akuuma
Bonna abamwesiga,
N’abo-abeebakira mu ye.
Leave a Reply