Oluyimba 45: BAANI ABAYIMBA TOBAWULIRA Lyrics
OLUYIMBA 139: BAMALAYIKA BAYIMBA
1
BAMALAYIKA bayimba
Batendereza
Nga bakuba ennanga zaabwe,
Tebawummula;
Eggye lyonna-ery’omu ggulu
Bayimbira Katonda.
2
Batendereza Mukama
Eyo mu ggulu
Abatuukirivu bonna
Abaawangula
Eyo bonna banaazibwa
Bonna batuukirivu.
3
Singa-abantu tumwagala
Eyatutonda
Tetwandyeyonoonye nebyo
Ebitagasa
Ka tubirekere ddala
Anti -ebyo bya Ssetaani!
4
Mu bifo-ebyo by’omu ggulu
Gye tulibeera
Nga tumutendereza-oyo
Eyatwagala;
Nga fenna tumuyimbira
N’essanyu eringi-ennyo.
5
Oweebwe nnyo ekitiibwa
Ayi ggwe Kitaffe;
Naawe-Omwana,naawe-Omwoyo
Omutukuvu;
Obusatu -Obutukuvu
Otenderezebwenga.
Leave a Reply