Oluyimba 22: AYI KITAFFE OMUTONZI Lyrics
OLUYIMBA 118: TWALA-OBULAMU BWANGE
1
TWALA-obulamu bwange
Obufugire ddala,
Ebiro bye ndimala
Bibe bya kukusinza.
2
Twala-emikono gyange
Okukuweerezanga;
Twala-ebigere byangge
Ntambulirenga mu ggwe.
3
Twala-eddoboozi lyange
Nkutendereze Yesu;
Twala n’emimwa gyange
Gibuulirenga-Enjiri.
4
Twala ne bye ndowooza,
Ndowoozenga by’osiima;
Twala-omutima gwange
Bulijjo-ogukuumenga
5
Twala bye nnina byonna,
Byonna bibyo si byange;
Twala-amagezi gange
Gakozese by’osiima.
6
Twala-okwagala kwange,
Ntwala nzenna nga bwe ndi;
Yesu-ontwalire ddala,
-Emirembe ne’mirembe
Leave a Reply