Oluyimba 3: BWE BUKEDDE-OLWA LEERO Lyrics
OLUYIMBA 100: MUMUYIMBIRE MUKAMA
1
MUMUYIMBIRE Mukama
Mmwe-abantu bonna mu nsi,
Olw’obuwanguzi-obungi
Yesu bwe yazuukira:
Nammwe mwenna-ab’omu ggulu
Muyimbe nga mumulinda;
Ajja n’obuwanguzi.
2
Ku lwaffe yabonaabona,
Era eyo mu ntaana
Omulabe yawangulwa;
Naffe twasumululwa,
Tetukyali baddu nate:
Erinnya lye lyebazibwe,
Olw’obuwanguzi bwe.
3
Otenderezebwenga ggwe
Olw’obulokozi bwo;
Era naawe.Ayi Kitaffe,
Ogwanidde-ekitiibwa;
Era naawe,Ayi Omwoyo,
Ka tukutenderezenga,
Katonda omu wekka
Leave a Reply