Oluyimba 1: TUZUUKUKE,TUZUUKUKE Lyrics
OLUYIMBA 1: TUZUUKUKE,TUZUUKUKE
1
TUZUUKUKE,tuzuukuke,
Emirimu tugikole;
Tuve mu tulo,tweweeyo
Ssaddaaka ez’okumwebaza.
2
Tufube nga twerowooza
Mpozzi-olwa leero okufa,
Tukulire mu mpisa ze,
Tusuubire okujja kwe.
3
Tubeerenga ba mazima,
Bukuusa bwonna buggweewo;
Katonda-amanyi-eby’omunda,
N’ebirowoozo-abyekkaanya.
4
Twakenga ng’omusana gwe;
Amulisa-ekkubo lyaffe,
Nga bw’atuwa-ebyaffe byonna,
Tumuwe-okwagala kwaffe.
5
Tuzuukuke,tumwebaze;
Awamu n’ababe bonna;
Abayimba-amatendo ge,
Mu ggulu ne mu nsi zonna.
6
Tuzuukuse,tuzuukuse,
Otujjuze Omwoyo wo,
Otuwe obunyiikivu,
Tuweerezanga Katonda.
Leave a Reply