Hymn Essala eyokweteka teka okusembera (pg. 85) Lyrics

Oluyimba Essala eyokweteka teka okusembera (pg. 85) Lyrics

 

ayi katonda ayinza byonna,
kitaawe wa mukama waffe yesu kristo;
omutonzi w’ebintu byonna,
asala omusango gwabantu bonna;
twatula tinakuwalira ebibi byaffe
n’okwonoona kwaffe okungi
bye twakakoze obubi ennyo,
mu bigambo bwetwakalowoozezza
ne bye twakoogedde,
ne byetwakakoze,
nga tunyooma ekitiibwa
kyobwakatonda wo,kyetuvudde,
kyetuvudde tusaanira ennyo,
obusungu bwo nekiruyi kyo,
twenenyerezza ddala,
tunakuwadde nnyo olwebibi byaffe ebyo
bwetubijjukira emyoyo gyaffe gituluma ,
obuzito bwagyo butulemye
otuddiremu,otuddiremu,
ayi kitaffe owekisa kyonna,
kubwomwano wo
mukama waffe yesu kristo otusonyiwe byonna byetwakakoze
otuwe omukisa tukuwerezenga,
tukusanyusenga mu mpisa empya
kaakano n’ennaku zonna.
erinnya lyo ligulumizibwe,
litenderzebwe,kubwa yesu kristo
mukama waffe,
amiina.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *