Oluyimba Essala yokusembera (pg, 90) Lyrics
Ayi Mukama owekisa,
tetwang’anga kusembera awali
Emezayo eno nga twesiga obutukirivu bwafe,
wabula okusasirakwo okunene okungi.
Tetusanira nakukung’anya bukunkumuka obuli wansi Wemezayo.
Naye gwe Mukama atajululajulula alina ekisa bulijo nebiro byona ;
ayi Mukama amuli owekisa,
otuwe omukisa tulye bwetutyo Omubiri Gwomwanawo omwagalwa
Yesu Kristo, tunywe bwetutyo Omusaigwe,
emibiri gyafe egirina ebibi girongosebwe Omubirigwe,
nobulamu bwafe bunazibwe Omusayigwe ogwomuwendo
omungi enyo, tubero muye,
naye abeere mufe emirembe
nemirembe. Amina.
Leave a Reply