Hymn ENZIKIRIZA Y’ENYIKE Lyrics

Oluyimba ENZIKIRIZA Y’ENYIKE Lyrics

 

nzikiriza katonda omu kitaffe ayinza byonna,
omutonzi w’eggulu, n’ensi,
era owebintu byonna ebirabika n’ebitalabika,
era ne mukama omu yesu kristo,
omwana eyazaalibwa omu yekka katonda;
eyazaalibwa kitaawe ensi zonna nga te zinnabaawo
katonda ava mu katonda,
omusana oguva mumusana,
katonda ddala ava mu katonda ddala,
eyazaalibwa teyatondebwa,
alina okubeera okumu ne kitaffe,
ye yatonda ebintu byonna,
ye yava mu ggulu n’akka ku lwaffe abantu,
n’olwobulokozi bwaffe,
n’atwalira omubiri ku bw’omwoyo omutukuvu,
mu muwala atamanyi musajja maliyamu,
n’afuuka omuntu,
n’akomererwa ku musaalaba,
ku mirembe gya,
pontiyo pilaato ku lwaffe n’atibwa,
n’aziikibwa,n’akka emagombe,
mu bafu,
kulunaku olwokusatu n’azuukira mu bafu,
nga bwe kyawandiikibwa,
n’agenda mu ggulu,
atudde ku mukono ogwa
ddyo agwa kitaffe,
era alivaayo okukomawo n’ekitiibwa,
okusala omusango gwabalamu n’abafu,
obwakabaka bwe te buliggwaawo.
era nzikiriza omwoyo omutukuvu,
mukama era omugabi w,obulamu,
ava mukitaffe ne mu mwana,asinzibwa,
atenderezebwa awamu ne kitaffe n’omwana,
eyayogerera mu bannabbi,
era nzikiriza ne kkanisa emu eyabantu bonna era ebuna wonna eyabatume
njatula okubatizibwa okumu okugyako ebibi,
era nsuubira okuzuukira kwa’bafu,
n’obulamu obwemirembe egigenda okujja,
amiina.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *