Engero za Baganda eza – K – Luganda Proverbs prefix – K
Kabaka afugira wala
Kabaka akira oluganda
Kabaka akussa owuwo : essanja libabula endagala (sso nga ba luganda)
Kabaka muzaawula : nga wa malibu asanze we bafumba emyungu (= we balya ekibumba)
Kabaka nnamunswa : alya ku nswa ze
Kabaka nnyanja : etta n’atavuba
Kabaka nnyanja : temanyiirwa
Kabaka nnyondo : ekussa buzito
Kabaka omuggya : agoba omukadde
Kabaka tamanyi birungi : singa ekitoogo ky’afuusa olunyago
Kabaka tatta : omusaakiriza y’atta
Kabaka tayotebwa nga muliro
Kabaka w’akuleka : si w’akusanga
Kabamba-ggulu : ng’obwoya obw’omu kifuba
Kabambaala : taganya nzige kusula
Kabanda-majjwa : n’enkanaga azibuuka
Ka bantende : asigaza misiwa
Kabbiiri akira omutumba
Kabbo ka muwala : kajja kajjudde, kaddayo kajjudde (ng’alina essimba)
Ka beene : ng’akummye; we kenkana : ng’akuwadde
Kabeera kannya : kanditumaze
Kabine abina abasajja banne
Kabirinnage : obulungi bwamulobera okuwanvuwa
Kabizzi kato : kasigulidde enkulu ekkolero
Kabootongo asigira ennungu
Kabuga ente : ensimbi aina emu (nti ente egwe)
Kabugumire : ng’ensingo y’omunafu
Kabula-bugyo : ng’omukazi ow’envuma
Kabula butegero : ng’ow’obusa asala omunnyu
Kabula we kalaga : bakatema ngalo (or lunwe)
Kaabulindiridde : ng’ekinnya ekiri mu mulyango ; bwe kitayasa nsuwa, kime-nya kugulu
Kaabulindiridde : ng’enkonge y’oku kkubo; bw’etekukuba magenda, ekukuba amadda
Kaabulindiridde : ng’omusanvu oguli ku nju; bwe gutakuba nnyinimu, ne gugi-ggala
Ka buwere : yawanguza Buvuma
Kabuze n’empulutu : anti oluwande lw’ekiwuubiiro
Kabwa kabbi : kagumya mugongo
Kadduubaale tanfuga : nga si mugole wo
Kafa omukkuto – – ( Akafa omukkuto: )
Kaafuma : ng’ensawo ey’ekiwero; bw’egwa mu mugga, towonya kantu, byonna bitobera ddala
Kafumu ka muwunda : kafumitira eruuyi n’eruuyi
Kagenda kalya : tikalaba nnaku
Kagenderere ng’omukadde awuula (= akogga)
Kagere kampadde : w’osanga nga balya
Kaggwa ensonyi 🙂 ng’omwana abba nnyina (= kitaawe); ) ng’omukazi awoza ne bba; ) ng’alya ne mulamu we enswa
Kaggwa ka ttovu : kasonsomolera ne gye katafumise
Kaggye taba wabiri : ekitembe kissa lumu, wabula ekya Nnanteza
Kagubiiru : nga mutwe gw’omusasi (= ng’ensikya y’omunafu); gugenda gwetisse, ate gudda gwetisse (= gugendera mu nku ne guddira mu matooke)
Kagulumale : ng’omukazi alya n’abaddu
Kagumba tekanyigirwa mu nnoga
Kagumba weegoge : ng’emmere y’omulima
Kajagira obuguzi : ddamu lye limugoba
Kajjamni abalagadde ku bbwa
Kakejje ntabula ku mbaga
Kakerenda : kaava ku lubaya
Kakowekowe kanda : katemereza ne we kataalye
Kakoloboto Kabaka yamutuma okuwera ekisiibo : n’ate n’alya
Kakulu asomba
Kakulu : awo omy a ttooke
Kakutungidde enkanamu : ng’ayomba n’ayonsa
Kakyama mamera – ( Akaakyama: ) Munno
Kakyali kansununwa : leka kaweze oluwombo
Kalaba-njuki : y’addira omuliro
Kalazaane : tekaggya buliika
Kalema ka nsinjo : ekyuma kitema kinnaakyo
Kaalengeera : ng’akakka k’abatabaazi
Kaliba akendo : okalabira ku mukonda
Kaliba kaki akalikugwa ku liiso? : ng’omunaku ayombye n’omwana wa boo- wo
Kaliba kasajja : akuliisa engo
Kakulu takulirwa : ekyuma tikikulira jjinja (= ennyondo tekulira jjinja)
Kalifa aleka kalifa : ekiteme okulekawo ensukusa
Kalimi ka mwewoze : kaweweera majja (= kajja kawewedde)
Kalimi ka mwewozi : kwegonza; kajja ne sembera, nkubuuze
Kalimi ke keeru
Kalimi-ngobya : nga Kanyolo ak’oku muzibo
Kalifa abiri : olonda ejjinja nga kalaba
Kalinnimi : ng’omuganzi aloo awolereza
Kalonda : ng’omusiri gw’omunafu
Kalulwe : ) nnantaliirwa mu nnyama; ) tabula ku nnyama; omumyuka tabula ku mwami
Kalya amaggwa : ke kamanya bwe kagakyusa
Kalya bugalula : ng’omumwa gw’emmandwa
Kalya buguga : ng’ow’obusa atatereka bugenyi; nti baganda bo bwe balijja, oli- bafumbira ki?
Kalya kokka : keetenda okulya mpola
Ka maanyi – kaliibwa na mbiro (= na ngabo)
Kambayaaya kakaabya : nnamube olw’eggulo
Kambe kaawaase : tekaggwako masanda
Ka mbuukire baaba w’abuukidde : agwa mu ntubiro
Kamegga enjovu : kenkana wa? ( Akamegga: ) III
Kameze mu luggya : ng’osima? (akatiko) ( Asimba kasooli: )
Kaami katono : okanyoomera (= okagayira) mitala wa mugga
Kampwerenda : ng’ensimbi egula amaduudu
Kamukago : okalya dda, kadda dda; ejjobyo liddira mu mutwe
Kamu, kamu : gwe muganda
Kaamukuulo : embuzi ennume erya olw’eggulo, ng’eraba enjuba egwa ng’efu- ndikiriza
Kaamukuulo : ng’ensambu ya kasooli
Kamuli kansaze : nga ggwe okagoogodde (= okagogombodde)
Kamunye nnamukwakkula
Kamunye ow’empaka : y’akubya nnyinimu enduulu
Kamunye w’agwa : ) tewabula luyoogaano; ) we waba olugambo
Kaamuwuube : ng’engalabi y’ekyengera
Kamwa kabi : katta Siroganga (= kassa Siroganga)
Kamwa kanfudde : ayomba n’ow’omuliraano
Kamwa nga ggiira (= ng’eggiira) : aktunwesa omukyala
Kamwenyumwenyu : embwa k’eseka mu luinbe lw’ente
Kannabubwo : tikakirwa
Kanaakuloopa : bw’okawa (= olumuwa) omwenge, kafuka ku mpagi
Kanaakutanda : akuwa amazzi, ng’akulekera olwendo
Kanaalusomba : ng’omuwuulu amuzza ku mmere
Kanaaluzaaln : ng’omuwuulu amulisa ku mmere, y’azuula ekkovu
Ka ndabe omusika : bw’alya azaala balongo
Ka nduve (= ka nguve) ku ntono : ng’ow’ekibuga asanze (= ng’omuyala atuuse) we bafumba
Ka ndye mmalewo : yeerabira olumbe
Kaneene : ssala (= bunza) miya
Ka nnananyi : mubbi tagenda na ndege
Kange kakira kaffe
Ka nguve ku ntono : ng’ow’ekibuga asanze we bafumba
Ka nkuggye amaggwa
Ka nkukyukire : omwana akyukira omulezi
Ka nkutte kibwamo : wambwa ky’atta amagi
Ka nkwasire : omusamaavu w’amannyo ayasira kasooli
Ka nkwetegule : ejjanzi lyetegula mukazi muzadde
Kannabwala : Omuyima k’akwata eminyira
Kannantebya : ) ng’omubbi w’omunju; okumala okubba ate ne yeetaakiriza; ) ng’omulubaale ow’okumpi; kye yawulidde enkya, ky’alagula eggulo
Kano nno keewaniko ng’aka makobe : gabala waggulu ne gagenda kubala nnu- nda
Ka nsale (wo) eggoye : omuwa-butwa y’alisalirawo Bubiro
Ka-ntanyi kaggweerawo : kafumita-bagenge w’akufumitira w’omweggiramu
Kanyinyiggi : omukazi omunafu k’akaaba mu lumbe
Ka nzigyewo akabega : Lukoda Baluubu
Kapa w’etali : emmese yeekola ebigenyi
Kasakkya : n’ataayanike abuuza omusana
Kaasa ttaka, nga ggw’osima? : kalisansulira mu ttaka?
Kasala becca (= bekkya) : ng’Omunyolo akubagiza Omuganda
Kasennya-nku ze yeetyabira : ze zimwokya
Kasiru akulembera : kagezi n’ava oluvannyuma
Kasiru y’asooka : kagezi ajja luvannyuma
Kasita guwedde – – ( Guwedde mirembe: )
Kasobeza nga kutu : tikunywa taaba ne kumala kuleeta ebifeetete
Kasobeza ng’enneebaza y’omwavu : ajja akaaba bw’omuwa, nti onnanze ki ssebo? ( Omwavu taweeka: )
Kasobeza ng’omubbi ow’omu nju
Kasobeza ng’ow’ekiwalaata : atudde mu mulyango nga balya; ogamba nti mpozzi atunula eno, kazzi atunula mu nju gye balya
Kaaso ka mpanga : kalaba n’ekiro
Kasookedde obirya (= kasooka mbirya) : leero toobisobole
Kasooli alituyombya
Kasooli w’e Ggomba : aliibwa na mbiro
Kasolo akagenda (akanya) obwoya – – ( Akasuula obwoya: )
Kasugga kagoba Idsambu : amazzi tigeerabira gye galaga
Kaswa akam : bwe buzannyiro bw’endiga
Kasiikuuzi akakubya emmomboze
Kataggwa buto : ng’akafuba k’ennyonyi
Katagirya : enkoko eribiika
Kataligirya : erizaala
Katangaala : kakira omuggyemu eriiso (= eriiso eriggyemu)
Kateebulanya (= kubennanya) : ng’olutta ow’ettulu
Kateegaya : ayingirira basajja banne
Kateetemera : alifa olw’okubambira
Kateeyanira : kafa omutego
Kateezaala : tikaala
Katikkiro yafa ndi Mugongo : nti kaakati oli muluusi? ( Okekkera ng’Omu- naawa: )
Katiko ka mukyala : okakuba nnoga, nako kakukuba nvuba
Kati onsanze : tokasikira mbazzi!
Katonda akuwa nswa : ggwe okubirira?
Katonda mbeera! : n’embiro naawe ng’otadde
Katono : kazira mu liiso
Katono keewaza : kakira eddene eddwadde (= erinafu)
Katono ko (= akako) : kakira eddene erya munno
Katubidde : ng’ow’ekirevu ageregeza
Katula keebisse buka : naye mu mwoyo ng’ayogeza ekisa
Ka tuwulire : asaabulula eriri mu kamwa
Katyupya (= Kacupya) : ng’omunnyu ogukoza lumonde
Kawakuzi : awakula ennombo ku bugenyi
Kawuulu kagezi : kagenda okunywa ogw’obusogozi, nga kamaze okweyalira
Kawuulu-ppumi : ng’omutwe gw’omunafu; gugendera mu nku, guddira mu ttooke
Kawummunta okw’enjala : okw’ekyengera aba mulambuzi
Kawumpuli agenda : n’okuba misota?
Kawundo ka mputtu – – ( Akawundo: )
Kawunguko : ng’ow’enkedi mu nnimiro
Kayaayu : olukaatula erinnya, keekuba ensiko
Kayemba nnantabuulirirwa : alisaabala obw’ebbumba
Kayindiyindi kalangudde ebijanjaalo
Kayinja tekanyigirwa wamu na ttooke
Kayisanyo : amalusu n’eddookooli
Kayita pirya : ng’ow’obusa agoba akayaayu
K’eoma : kamanywa mubambi
Ke weerimidde : kakira mbegeraako
K’ezaala : k’ekomberera
Keezimbira : tikaba kato; bw’ogenda okukwata akasanke, ogenda osooba
Kiba kibi, kiba kikyo : gwe tikube ekyalo nga balangidde omukadde we – – ( Tekiibe kyalo: ; Ebya kuno tebiisoboke: )
Kibatto : ow’ennungu ku mayinja
Kibaawo kimala : amaaso g’omulungi galoga enjala (= amaaso g’omuganzi gama- la enjala)
Kibaawo kimala : ennyindo y’enkoko kye kyenyi
Kibaawo : ng’ekibugo ekikuuma empindi
Kibaaze : ) ng’eky’omwanisi wa taaba; ) ensekere ky’eyita mu kiwalaata
Kibi kigwana wala – – ( Ekibi kigwana: )
Kibojjera ku lwazi : kyesiga mumwa bugumu
Kibula abuuza : ng’erigenda emugga
Kibula buguzi : kiddira nnyinikyo
Kibuyaga agwe mu lusuku : kamunye agwe mu nkoko
Kidda walime
Kiddimusi (= kiddumusi) : tekinyaga byenda
Kidiba kidda wabookyo : essaaniko mu lusuku
Kifa mukokko : ng’etonnya mu balaalo
Kifa omusana : nkuba y’ekinnyulula
Kifundikwa kirinsabira : tafuna bwami (or: ng’asubwa)
Kigabo kikadde : akyagala yakissaako omuwambiro
Kigambo si mutwalo : nga bakutumye gy’oyagala
Kigaanira omuddu : (liba) bbwa lya mu mutwe
Kigenda kudda wa? : bw’asanga bw’ayisa bwe kisanga, bwe kikola)
Kiggweeso : nga ne gw’oyagala mw’agendedde (= agenze)
Kigya n’abagya
Kigobero : kikira obugenyi
Kigomba kikira omwana
Kigudde mu ndira : ekimonde ekinene mu maaso ga muwuulu
Kigula engabo kiddawo : ng’eyagigula wa maanyi
Kiguumaaza : ng’ente esula ku kyoto; bw’owulira efuuwa, nti ekuma muliro; obudde okukya osanga vvu jjereere mu kyoto
Kiguumaaza : ng’ow’ettulu atemya
a Kigwa mu muliro : ng’embaala (= ng’ekiwojjolo)
Kigwana gonja : nga bamuzaala mu Busiro
Kigwo kya lwazi : bwe kitakumenya mukono, ne kikwasa omutwe
Kijja omanyi – – ( Ekijja omanyi: )
Kikere : ky’osammuza omuti, oluvannyuma okikwasako ngalo
Kikira ennoma okulawa
Kikira obusa : afumbirwa muggavu w’amatu
Kikonde : kikuba all kum
Kikonyogo : bakikasukira (= bakikanyugira) kulaalira ne kijja n’ekirimba
Kilcoyo : tekiriisibwa maddu (= bw’okifumbya amaddu tokirya)
Kikubuuseeko : ekyabuuka ku mugenyi omu
Kikuffiriddeko : ng’endwadde y’enkoko
Kikujjuko : ng’ow’ennungu ayita ku mayinja
Kikulejje : ekigenda emug,ga n’emmindi
Kikuuno : ng’olabye akukuunirako
Kikwanguyira : ky’olya
Kimala mpaka : kusirika
Kimala okwola : bakikwasa engalo
Kimaza bbiri (= nnya) : y’aliwa ogw’omugenyi
Kimira mwoyo : ng’enkoko emira ensanafu
Kimmanje : bwe kita (= okuta), ensuwa nga luggyo
Kimpowooze : ng’ogw’amenvu
Kimunkumunku : ng’omukira gw’endiga omuliire ku bijanjaalo
Kimwa kya mugole : kijja ne siirye, kimala omuwumbo
Kimwa-kitoole : ) ng’omukazi alya emmamba; ) ng’omusajja alya ebbumba
Kimyanku ye mugabe
Kinaabataya (= kinaabasobeza) : ng’amatooke amatono; bw’ogalya omu, toga-mala; bwe mugalya babiri simukkuta
Kinaagomba : tikibuulirwa mulunnyanja
Kinaakulyako amenvu : kituukira ku kususa; olumala okususa ng’alya
Kinaataama : tekikomerekeka
Kinaayokya nkimize
Kinene kya nkukunyi : owanda mu ngalo amalusu n’olyoka okisitula
Kinnanga : tekiggwaamu (= tikiggwaako) lumonde
Kinnya kya mulyango : bw’otokigwamu mafuluma, okigwamu amayingira
Kino kibatto : ow’ennungu ku mayinja
a Kino kiggweeso : nga ne gw’ayagala mw’ajjidde
Kino kiggweeso : nga gw’ayagala agenze
Kino kinyeenya magi! : ng’enkoko ebiika endege
Kino kirungi : na kino kirungi
Kinsanze n’oluku
Kintabuli : amalibu n’omuzigo
Kinyiigo tikiyuza lubugo
Kinyoola mumwa : nga gw’ageya wa kumpi
Kinyonyi kibi – – ( Ekinyonyi: )
Kirabise ng’Abaseveni bangi bajja kuddayo mu maggye : kubanga amagatto ne kabuuti baabitunda
Kirabwa abangi : omunafu alima ku kkubo
Kiralire : wa ddalu tawulira
Kiraza mwoyo : ng’ebbwa eridda mu nkovu
Kiraza mwoyo : ng’omuwuulu ayimba, nti ndibula naye; nti simanyi alibula na wange?
Kirevu ntende : kyalekerera wante ne kikwata wambuzi
Kireebereebe : ) ng’empagi ey’omu ddiiro; ) ng’amazzi g’omukonda gw’essu- nsa
Kiriba edda : mmese ya ku mutala
Kiriba edda : bw’aliba akootakoota, alingoberera
Kiridde obwami : ekyamusengusanga akyerabira
Kiridde obwami : tabula muganda we (= tekibula anda zaakyo)
Kiridde nnamube : omunaku lw’ayiga okulonda
Kiri ewala : mnduzo (= mndo) y’ekireeta (= y’ekiggya)
Kiriggwa jjo : ) tekikutunuza ng’alira; ) tekikuggyaako munno
Kiri mu bbanja : tekinunula mwana
Kiri mulaala : ) teyeekolera luggi; ) omusigire teyeegulira ngabo
Kiri mu ttu : kimanyibwa nnyinikyo (= nnyiniryo)
Kirinde kiggweeyo – – ( Linda kiggweeyo: )
Kirindizo : ng’aga Lubuga
Kirinsanga ewange : emmese efiira mu bunnya
Kirintwala ekipaalo : nga ne gy’alikiggya amanyiiyo
Kiro kyakulimbye ki? : y’akuzaaza olugambo lw’enkya
Kiruyi kya muzaana : kiggwera ku mmere
Kiryango kibi : ekiyingiza ababi n’abalungi
Kiriibwa atabaala : tikifa busa
Kiriibwa omukulu : tekibula nsaano
Kiryoka embi : kye kiryoka n’ennungi
Kisaala munyazi : nti nnyinikyo eyakifuna anaakaaba musaayi (= okukira ald-funa)
Kisala obulungi : kye kikuwa embikka
Kisasa : n’ataaweese aganzika
Kisawo ky’ataliiwo : kijjula mayinja
Kisaayire okitte : akirinda kwa mweya (= kwa kyeya)
Kiseke kya munyumya : kijjula malusu
Kisekwa abangi
Kisenyi (= kyoto) : nnantayombooza
Kiserebetu : ng’omukkuto gw’amenvu
Kisiibule : omusota bwoya
Kisige : tikigatta na nviiri
Kisigula ennyana : kigiva mu kibeere
Kisikirize (= ekisikirize) : kyeggamwamu musana
Kisiimwa omuyise : omutwalirwa tasiima
Kisinde kyo n’ekya munno gw’oyita naye : kye kimu
Kisisinkana ataakitte : ng’omutamanyapnamba asanze omwenda
Kisookondwe : bw’okifumbira mu nva, tozirya
Kiiso kya mbuzi : kirekerera omussi ne kitunuulira omubaazi
Kisosonkole (kya ggi) : bakisuula mu luguudo
Kisugga kya munafu : kye kitema omulima enkizi
Kitagenda : azaala abagenzi (= kizaala abagenyi); ekikonde kisindika effumu
Kitaka talya : atereka buteresi
Kita kitava ku ssengejjero : ye ya nkindo
Kitaakule : kizimba mu lumuli
Kitali kibbe : eggufa osuula mu mulyango
Kitange mmulaba : tekirobera musibe kubomba
Kitamu kya muyiga : omuguzi akyegaanagaana
Kitasimbwa : kyajja ne mukoka, kimala kibala emyungu emingi (= kibala ebita)
Kitatta yima : tekimumalako nte
Kitembe kissa lumu : wabula Nnanteza, kye kyassa emirundi ebiri
Kitentebere : ng’omusajja alya (= alega) ebbumba
Kitentebere : ng’omusajja akubira nva ekifo
Kitentegere : bw’okisubula tokivaako nga tekikusiize masanda
Kitentegere : we bakyagala we bakituuza ku musala
Kiteezaala tekyala
Kiti kya muwogo : gy’okisuula gye kimerera (= bakisuula obutadda ne kirokera)
Kitonto(golo) : ggumbya ennyonyi
Kitta nkimanyidde (= akimanyidde) : ennyanja etta muvubi
Kitta engo : kigiyinga buzito
Kituuliriro kimala enku n’amazzi
Kitundu kya muwogo : bakisuulira butadda gye kimerera
Kivu : kijjirira okuluma n’okutwalana
Kiwaluko : tikinyaga byenda
Kiwanga kya musenguse : kiva we bandikiziise, kigwa ku kubbo
Kiweddeko abamanye : akiraza mumwa
Kiweddeko endere
Kiwola (= ekiwola) : bakikwasa ngalo
Kiwooma magaaya : bw’oba okimize tokisesema
Kiwombe y’eyiwa amata (ameeru)
Kiwotoka tekyala : ) omukalo gw’embogo gugendera mu nkwawa; ) eddiba ly’engo balyesiba mu kiwato
Kibuuka lubona mawano
Kiyenjeezi : kigya n’abagya
Kiyiifuyiifu : omugole ky’agwa ku nkyakya
Kiyini kibi : kijjukirwa malima
Kiyiira omunaku : kigwa mu vvu; bazibumbira okufa, ziramira mu kyokero
Kiyirikiti kirinnyibwa buwaze : embwa bagikirinnyisa efudde
Kiyita waggulu : otega wansi
Kiyuuni kiriibwa omukulu : tekibulamu nsaano
Kizeezengere : kitta wa mputtu
Kizibu okulaba : ng’ekimuli ky’ekira (= ndaggu)
Kiziribano : nga gonja omwokere musasa
Kizzeeyo : mw’asiimira
Kkomekkome : ng’erigenda emugga (= e Bubebbere)
Kkomekkome omuzaalisa ku lubugo : bw’olaba ng’atutte olubugo, ng’omwana omu; bw’olaba ng’atutte embuzi, nga balongo
Kkonde vannyuma – – ( Ekkonde evannyuma: )
Kkonkomi bbi – – ( Ekkonkomi: )
Kkubo likozza
Kkubo litemwa omukulu – – ( Ekkubo litemwa: )
Kkubo ly’omulimba – – ( Ekkubo ly’omulimba: )
Kkumi limn – – ( Ekkumi )
Kkumi lya mpisi : n’obuto nga bugenda
Koogera ekibi : ne katatuulira awo
Kojjange ammanyi : ekikere kyasubwa omukira
Kookolo bba mabwa
Kola ng’omuddu : olye ng’omwami
K’olya enkya : k’ogwa nako
K’onooweeka : tokalinda kusaabaana ttosi (= kusaaba ttaka)
Kope : ng’amasavu g’engabi
K’osima : k’olya
K’otonnaba kumwesa : k’otenda obwogi
Kozo mpola, tumalirize : nga munda yanyiize dda
Kubennanya : ng’olutta ow’ettulu
Kubula mwana : kwesitukira
Kufuuyira mbuzi mulere : sso nga teezine
Kukaddiwa : kudda buto
Kulaba binene : si kuwangaala
Kulaba nsega ya museera
Kulaba obukulu : akuteebeza Obunyolo
Kulemberamu : akulega ntumbwe
Kulika empewo y’enkya! Praise for (the work in the field during) the cold of the morning
Kulumwetu : ng’ensekere emnga
Kulya mungu : buteesokoola
Ku mbuga ndivaako bwereere : ennyama anyaga ya vviivi embi; nti nno singa anyaze ennungi
Kumira mwoyo : ng’enkoko emira ensanafu
Ku mumwa kuliko ekkubo
Kunaaba kumirungusa : ng’ow’amalibu asanze bafumba emyungu n’ettooke
Kunaabeera kubennanya – – ( Okubennanya: )
Kunaaza mulungi mabega
Kunguyiza : ng’omubbi owa mu nju
Kunogola nsingo : ng’ow’ettulu alamusa ababiri
Kuno kuseereza : ligenda mugga
Kuno kwe kwaffe : takulaga gy’asula
Kuno tekuli kabi : yeerabira ekigenyi
Ku ntujjo : sikubula musiiwuufu
Kuseka kamwenyumwenyu : embwa k’esekera mu lumbe lw’ente
Kuseereza ligenda mugga
Kusigalawo kuzirinda : ng’omwana w’omufu asaba ow’omulamu olubugo
Kusooba si kubba
Kusula kudda buto
Kutta : kulimu ki? Killing? What good is in that? Referring to war or a skirmish
Kutussako-akasiiso : ow’endali k’assa omukukumi
Kuwala nswaswa ku lwazi
Kuwerekera nsusso : owa busa bw’awerekera ab’ewaabwe
Kuwoleza mukazi gye yanobera
Kuyitaba wangi – – ( Okuyitaba: ) Rowl
Kuyita kulaba ow’amalibu ng’asanze bafumba ebikongo
Kuyitira mu biryo : ng’akwagaza olutalo
Kuzaala kulimu ki? : nga gwe waza?la takuwulira
Kuzaala kulungi : nga gwe wazaala akuwulira
Kwa mwezi : baamuleka aale
Kwana bangi : weesige batono
Kwata n’owaayo : nga yasikira musikire
Kwebaka kufa – – ( Okwebaka: )
Kwe galaba : omugumba ku bba
Kwegendereza : ng’ow’amayuuga ayita ku lutindo
Kwe kuwamnya : ng’abulidde embiro; nti aligoba wa mmindi
Kwemmembekedde : ng’eya wakati
Kwe nkuba omuggo
Kwerinda si buti
Kwetaganya : ng’akyawa gw’ayita naye
Kwolera mri (= essalambwa) mu bunnya
Kya bangi : ) kibuna ngalo; ) kijjula ngalo ng’olabye akwolesako; ) kinoga (= kirondamu) nnawalubwa
Kyafa kirina ki? : nsawo y’omuwuulu
Kyaffe babiri : bw’efa esula
Kyajja na mazzi : ne kibala ennunda
Kya kagambwa : ng’omuwuulu anaatuuma nnyinimu erinnya
Kyakatuuka : tekibula mutengeetero (= mutengeeto)
Kyakayiga bw’akuba engalabi : tayimbirira
Kyakonye : tekiwulira muliro
Kya kuba : tagaanira muggya we
Kyakula ggala : ng’emmese esula omw’omunafu
Kyakula ndaba : ennyanja etta omuvubi
Kyakulumbye : tekizzikayo
Kya kuno bwe kityo : avuma mwami
Kyakuwangaaza : k’omere ejjobyo ku mutwe
Kya kwambala : kitambye amagero
Ky’aleeta : tokizzaayo
Kyalemye : ng’omwana alemye nnyina okumubuulira
Ky’aligamba : ndikikola
Kyali ky’obulungi : kifuuka kya bubi
Kyaliiro kya mmere : bakyagalira mu ddiiro
Kya maanyi : kiriibwa na ngabo
Ky’amukoze : enkoko ekikola baana baayo; ky’ejje ebazaale ng’ebafuula ntebe
Ky’amukubye : Kawuta akikuba ente mu lubiri
Kya mummi : okiriira ku mwana
Kyassanga : akomereza ndu
Ky’atalabangako bwe kituuka : taldtegeera
Ky’aterekera omulamu : tekivunda
Kyazze : tekizzikaayo
Kye banjagaza : bw’atabaala tadda
Kye baanoonyezanga embazzi : kibuyaga asudde
Kye bavumagana : kye balya
Kyebonere : ng’amasavu g’engabi
Kyebonere : ow’entumbi ng’ameze ebbango
Kyegombe : tekirwa kubula (= kuggwawo)
Kyejjusa : ng’eyakwana ow’amayuuga
Kyekango : tikimanya muzira
Kyekulumbaza sikirya : effa-mpewo ndiwa nnyinimu
Kyemanyikiriza : ng’abaleeta omumbejja omubi
Kyemanyikiriza : nga Munnabusiro omubbi; nti ndi ku Bbira awo
Kyemanyikiriza : ng’omulungi eyeetuuma Nnabiweke
Kye ndikuwa olikwasaako ebbiri : akuwa lumonde wa bikuta
Kye nkola bannange : saagala bakinkole; ng’omubbi bamubbye (or: ng’omu-sezi bamuseze)
Kinkubidde mu nnimiro : ) n’okubunga ng’obunga; ) ng’ezzimu eggumba
Kye nkulekera olyanga : bwe yeerabira ensawo, akoma mu luggya ng’agiddira
Kye nkwagala : kin mu jjinja
Kye nnalaba ewattu : sikitenda mu ddya
Kyenyi kibi : tekirukirwa nkundulu; omala nga bambalikawo
Kyenyi ky’empumi : tekirukirwa nkundulu
Kyenyi ky’omubi : kisabira omulungi amazzi
Kyerabirwa mugambi : naye omugambibwa takyerabira
Kyeresebwa : n’okiwa munno
Kyereeta : ng’omususi w’amenvu
Kyerondera : taba mubbi
Kyeroopa : nga w’ettu ly’empande
Kye sirya, mbuusa : omuyaayu ndaba ddiba
Kyetta ng’eya zigoto : amayembe ezza mu kyenyi
Kyetunda : ng’ow’ettulu asima enju
Kye wajja okulaba, olyekkaanya : omunya gwekkaanya omunyale
Kye walabye : kye kiba ekikyo
Kye-walyanga : bw’olaba ennaku olekayo
Kye wazadde : tekiba kibi
Kye weetema olwadde : bw’owona tokiwa
Kyeyagalire : bbwa lya njola
Kyeyendere : bbwa lya njola; bwe likutanirira, tonyiiga
Ky’ofa togabye : Walumbe y’agaba (= akigaba, = akikugabira)
Ky’ofuna oyagala : bwe kikudibirira (= bwe kikutamirira) oyita Katonda, nti Ayi Katonda, singa okinzigyeko!
Kyogereko : tekirema kubaawo
Ky’ojje obege : ng’oli ku bbiririvu
Ky’okisa ewannyu : omulubaale y’akyogera
Ky’okoze, enkoko – – ( Ky’onkoze: )
Ky’olabako ky’obuuza? : nti Endiga yazaala bumeka?
Ky’olaba omu : kikussa matenda (= makunga)
Ky’olabye : gonja akiraba kwa njala
Ky’oleka ennyuma : kye kikusinza
Ky’olimba obuko : kye kibutta; ndikuttira enswa, ng’ekiswa kikotera
Ky’olyako omuddu : kye kikuseenyeza enviiri ku mutwe
Ky’olyako omujjwa : kye kimuyombya
Ky’omanyiira bwe kiba : emmese tetomera mpagi
Ky’omanyiira bwe kiba : amaaso g’omunya tegafa munyale
Ky’omanyiira tokitya : envubu tetya nnyanja
Ky’omummi – – ( Kya mummi: ) ,
Ky’onkoze, enkoko ekikola bwana bwayo : ky’ejje ebuzaale, ng’ebufuula ente- be yaayo
Ky’osimba onaanya : ky’olyako ettooke
Ky’oteebeza embazzi : kibuyaga asudde
Ky’oterekera omuganzi : mukyawe y’akirya
Ky’otobuulirako munno : ) enseko zikiyitako; ) emmese ekibba
Ky’otolya : okiwa banno ne bakirya
Ky’otoolye kukkuta : okirekera abaana ne balya; nnasswi takwata ku nkejje
Ky’otoolye : tokigobako mbwa
Ky’otomanyi bwe kiba : amazina ag’ekirevu olabira ku mmere
Ky’otomanyi : matooke magoye; togamanyi muwendo
Ky’otonnalya : tokyesunga; ettooke balitutte kiro
Ky’otonnalya : tosooka kwasama
Ky’otoowe mukulu : tokimulimba
Ky’owa omutomi : olyako
Ky’owola otudde : okibanja oyimiridde
Ky’oyagala kikuseeza : Omunyolo amalibu gaamuttira olubimbi
Ky’oyagala : okigundiza
Ky’oyagala tekijja gy’oli : Nnabuzaana akwata Banyolo
Ky’oyagala tekikwagala : gy’okuba olubuto, entumbwe ekubayo mabega
Ky’oyagala tekikwagala : omwana wa mwannyoko akula nga nsujju
Ky’oyagala tekikwagala : singa emmere esula mu ttama
Ky’oyagaliza embazzi : kibuyaga asudde
Kyuma kitya muweesi
Leave a Reply