Engero za Baganda eza – B – Luganda Proverbs prefix – B
1.
2. Babadde bawoza ogw’embwa : ng’endiga erinnya enju
3. Babika anzirako : ne batabika nze
4. Babika enjala : obajja mulawo
5. Babikidde enfuuzi : okwennyamira
6. Babikidde omunafu : butalima
7. Babuulira omwana wa boowo : nga naawe omunaku owulira
8. Bagabega nga bagaaya? : ng’abaguliza mubezi
9. Baagala atabaala : tebaagala muyombi
10. Baagala ayaze
11. Baagala azimbye
12. Baagala mugagga
13. Baganda baamirira alidde (= basanyukira alidde obwami)
14. Baganda nswa : yeebikka ku mabega, ng’olubuto bwereere
15. Baggala ekkubo : baba ba maanyi n’abaliggula
16. Baggyewo eddiba : ennyomo zikolonge
17. Baggyewo embuzi : batunuulire enkondo
18. Bagigujumbudde : atereka ya lubiriizi
19. Bagoba bikere : ng’eminya gijja? ( Bagoba minya: )
20. Bagoba minya : ng’ebikere bijja bikwetenga
21. Bagobedde munya mu ssubi
22. Bagundi bakugamba : nga y’amugamba
23. Bajula avuddewo
24. Bakaabira mubikire : naye abakutukidde mu ngalo!
25. Bakakubye mu nkaatuufu : kukongera kumwa
26. Bakale boogere : nga bamugambye gw’ayagala
27. Bakama mpisi : banyiikira
28. Bakanaanise akaagala : muk’omubbi okuzaala abalongo
29. Bakidambya : kye kizaala eddenzi
30. Bakinaanise akyagala : nga mukk’omubbi azadde abalongo
31. Bakinsimba : ne sireka muwa-butwa mmere
32. Bakiraasa : ow’embuzi alaasa ow’amaliga
33. Baakisimba enkumbi
34. Bakiwadde munnange : bwe buggya
35. Bakookolo bageyana, nti erya munnange lye lisinga okuwunya
36. Bakopi mayenje – – ( Abakopi mayenje: )
37. Bakuba emyali : omubumbi n’aba mulamu (or: ne batatta mubumbi)
38. Bakubalira amalya : ne batakubalira mirambo
39. Bakubanja n’otobba
40. Bakubuulira kirya-nkolo (= nkondo) : obajja mirawo!
41. Bakubuulira lw’e Mukoko : olatta
42. Bakubye mu kirimba : kulaba ziyidde
43. Bakubye mu nkaatuufu : kwongera kumwa
44. Bakugamba : y’akugamba
45. Bakugoba mu nju : nti nnaasula mu mulyango
46. Bakugobanga n’ojja ewaffe : y’akuyita Lubuna-miryango
47. Bakukiza nsumika : ebijja bituutiira
48. Bakukyawanga : n’otogya ddogo
49. Bakulagirira eddagala eritta engabi : oyokya binsambwe?
50. Bakulagula enfumu : ng’ogalamira? ( Banjula enfumu: So olaba: )
51. Bakulamulira, nti ka banzite : nti emagombe eriibwa obwami (= nti ogenda kumyuka kitaka)?
52. Bakuloze katawaano : ke baaloga ow’ebbuba
53. Bakulu babiri ab’empiiga : si kyalo
54. Bakulu balya bulungi
55. Bakumba na mulamu
56. Bakunyaga n’ente : ne batakunyaga na mukazi-muggya
57. Bakusaggira okolola : ey’obugoba gy’oyagala? (or: nti osinga kwagala ya bugo-ba?) (ennyama)
58. Bakuseera mu katale : n’oyombesa ekkubo (or: Bakuseerera)
59. Bakuseera : takwazika
60. Bakusinza nsumika : nti ebijja bituutiira (or: nti labs bwe bijja bituutiira)
61. Bakutenda : akugabya
62. Bakuwa : afunda ku kya ggumba
63. Baakuwa obukulu : oliirira?
64. Bakuyisa ennyindo : oyitabya kamwa?
65. Bakuyita embuga : si buganzi
66. Bakwanya mikka : nga makondeere
67. Bakyaliza ntondo : ng’omusukundu
68. Bakyassaako agange
69. Bakyawa mwannyoko : ggwe osaba kibugo?
70. Bakyewunya : ng’omufumbo alya mu baddu
71. Balabaganako : mbwa na ngo
72. Balambula kimeze
73. Balamu magoma – – ( Abalamu magoma: ) p
74. Baleke, abaana bazannye – – ( Baana bazannye: )
75. Baleke baggwe akanyomagano : ng’omwagalwa kungulu
76. Baleke beemale eggayannano : nga gw’ayagala y’ali kungulu
77. Balekera ddala : endwadde si ya kuwona
78. Balenzi, babawa : alya ku vviivi (= atwala ya luyuvuyuvu)
79. Balenzi, mugawe ebyala! : nga w’atwala w’afunze
80. Baligikuba kigo : kazzi yeerabira omuliro
81. Balikomya eyo ne bazza : ye nyolo agenda
82. Balikuba ku nda eridde : muk’omubbi talamula bba (= talabula)
83. Bali ku ddembe : bakudaalira ajeera
84. Balikuta nga : ) kayamba kenkana mmale ) embuzi zibaaga ngo ) enjala zibaaga ngo
85. Balimutta jjo : tikikulobera (= tikikulayira) kumusenga
86. Balimwogerako : omuzira gwe batendereza
87. Balintuma olwange : tafuna
88. Balireete : eggye talirinda kulwana
89. Balitta ku lingi : asenga kwa Mukwenda okuli abangi
90. Balo embogo yamutta : ko Nnampulirazzibi, nti bw’atyo bw’azifumita
91. Baloolera nkunga : ng’ab’ebbugga balya
92. Balubuuliza mbazzi : nga luli ku muddo lulya (= lugaaya)
93. Balugadde batya? (oluggi)
94. Baluleekeza : ng’omusajja ayombera ensuwa
95. Balunaayiza : ng’ow’embaliga ayita mu luwenda (= akulembera omusulo)
96. Balusaggya : ng’omuwuulu agula enkulo nti onooziwa ani okuzifumba? ( Oli balusagya: )
97. Balweggira : ng’ensimbi egula muwogo
98. Balya nga ndaba : ) wa kikere omukira mpaako ) y’atoma
99. Balyegombera ku mugogo
100. Balya okwabwe : tebalema kuduula
101. Bambalaganye bukanzu : essuuka ewenjuka
102. Bampe ne nneeriira, balibuuza ani? : afa tasasudde
103. Bamulanga ki? : y’akaabya musibe
104. Bamuloze katawaano : ke baloga ow’ebbuba, nti ddayo gy’ova
105. Baamutta : akira yafa
106. Bamututte kya mwanisi wa taaba : ekibaaze
107. Bamwagala olusuusuuto : lwe baagala mulekwa mu lumbe
108. Baana ba Kintu – – ( Abaana ba Kintu: )
109. Baana ba lumonde : bakulira ku muguwa (= ngoye)
110. Baana ba muno beeyokyayokya nnyo : nga y’amummyeko
111. Baana bannemye : talamula baana
112. Baana ba Walumbe : babuna misaasaano
113. Baana ba Wambwa : baggwa musaasaano
114. Baana bazannye (= baleke) : bw’avaawo abayita balangira
115. Banaabegabega ettaka : nga muk’omubbi asindika bba okugenda okubba
116. Banadda : ba twatumye banadda
117. Banaagyekanga : taginyiriza
118. Banaku beekiina : nti nnasuze mu Ggulu (e Mukono)
119. Banaakutenda okukomaga : n’okomaga n’ensambya
120. Banaalya ku ago ne beebaka : Abalya nnyingi basula ku kyoto?
121. Banaalyamu agayidde : ng’erumye omukazi k’egwe amasanda, ng’erumye omusajja
122. Baana na baana : ng’omu tannakuba munne lubale
123. Bandaba : ) afunda ku munaabo ) alinda kutoma ) alya kya luyovu
124. Bandaba wa? : yeeyitira basabi
125. Banfuuyiridde emmese : alima watono
126. Banjagala : yeegomba tebanjagala
127. Banjula enfumu : ogalamira? ( Bakulagula enfumu: )
128. Bannange bangi : ow’essimba akubula
129. Bannange banjagala (= bannange bangi) : ) nga tonnagwa wabi ) bw’ofa wabula akukaabira
130. Bannanze bwemage : bwe balanga enjobe mu lusa
131. Bansuute : atta obusika
132. Bantu balamu : mwennyango
133. Bantu mannyo ga mbizzi : gaseka kungulu, nga munda mulimu bussi
134. Bantwala olutwe : tava mu ggwaatiro
135. Basajja kye balya : tekifa bwereere
136. Basajja mabale : gasannana nga bw’oddira ejjinja n’okuba linnaalyo, n’eryatika
137. Basajja mivule
138. Basajja nsolo : bw’omugobera mu nsiko, awaguza maanyi
139. Basajja ssubi – – ( Abasajja ssubi: )
140. Basammula ekkere : balinywera mu mazzi (or: basenawo mazzi)
141. Basa na basa : ng’amagezi bagenkanya
142. Baseka n’eggimbi
143. Baseesa gwaka
144. Basiima bakyagaaya
145. Basiimira ku mugogo : bw’erigwa wansi, nga bbi
146. Basindise empisi okuwooza akatale
147. Basindise enkima mu kibira
148. Bassa kimu : nga nkuyege
149. Basse Munyolo : Abaganda baseke
150. Basugumbira (= abasugumbira) e Mmengo : Kabaka alibookya
151. Basujju bandidde : abuulira Lubinga, nti anaasala atya okusinga mutabani we, Kasujju ?
152. Bataka bagunywa kiro : bamukubya akasendwe
153. Bataka tebeesigwa – – ( Abataka tebeesigwa: )
154. Baata enkoko) nkulu : kwetakulira
155. Bateebereza bubi : akuyisa enkya, omuyisa eggulo
156. Bategeeza akataayonka
157. Batindira kibaze
158. Batisse (= batikkidde) mulalu ssanja
159. Batongole bagaanyi : nga y’agaanyi
160. Batongole mbuzi : zirundwa kamwa
161. Batta emiggya : beerabira emikadde
162. Baatubba, baatulekera kaki? : w’asula akulaga nsiisira
163. Batuggudde : taggya mutwe wansi
164. Baatuuka : beerabira abaabatuusa
165. b Batuusa ebbugga : beerabira embooge
166. c Batusaze : y’atiisa eggye
167. d Baatutta baatumalawo : akiina abaafa
168. Batuvumye e mbuga amatulu : nga ye y’alirina
169. Baatwaya baatulekera ki? : omugogo alaga gumu
170. Exaggeration! Much ado about nothing
171. Baatwongera abaddu : ng’akagugu kali mu nkwawa
172. Baawunda mpango : nga balidde bakkuse
173. Bayira ndya : agabira w’ebweru
174. Bayisaawo ne beeriisa enkuuli (z’entuuyo)
175. Bayita kungulu : nga muwuzi
176. Bayita n’omuliika : n’anunula (= awonya) abaana
177. Bazaala mubiri : tebazaala mwoyo
178. Bazaala mugagga
179. Baze wange, onkyawanga : n’ompa enkumbi n’olubugo!
180. Baazibumbira kwatika : ne ziramira mu kyokero
181. Bbugubugu : si muliro (nga gw’agifumbira tamwagala)
182. Bbula bikolwa : likwosa ekigagi
183. Bbulwa bikolwa : likwasa ebigagi
184. Bbuno asekera abassi
185. Bbwa ddene : ligambwako nnyiniryo lumonde bw’alemwa omuggo, enkumbi eyamusimba y’emusima
186. Beerabye bbiri : tibajjukira nga bayinza kulwalako
187. Beeyamirira yejjeeredde
188. Bigambo bikira ennoma – – ( Ebigambo bikira: )
189. Bigendetanye (= bigendegetanye, = bigendagatanye) : ng’emmese eridde ag’o-muliirize
190. Bigere biranga essubi
191. Bigere bitunda nnyinibyo
192. Bigere bya mbogo : obirinnyamu nga teriiwo (= obyegezaamu ng’evuddewo)
193. Bigere kkumi ttunda : bwe bil(utuusa w’onoolya n’osanyukirira ate bwe biku- tuusa w’otoolye n’osunguwala
194. Biggweredde awo : nga gwe bageya ayingira
195. Biggweredde awo : ng’owuwo y’amezze
196. Bigooli : babiriisa njala
197. Bijjula ettama : bye bikuwa engaaya
198. Bijuulo : omusajja ajuula banne
199. Bikalu bitaaka : ng’ejjinja ly’omu kyoto
200. Bikoomi bya mwaka : n’omunafu ayokerera
201. Bikongo biwunya ttaka : nga nnyoko y’abirimye (= nga mwannyoko abifu- mbye)
202. Bikongoolo : tibitta nnume
203. Bikubuze : ebyabula ab’e Mityana, okuyisa e Ttanda ewa Walumbe
204. Bikutunye : emmese gw’esaba ekigwo, y’addira omuggo
205. Bikutunye : ng’akulooe wa mu nju
206. Bikwalira : tibirimbula
207. Bikya bya mbuzi : tibyekaanya mugwa
208. Bimanywa nda : nga by’alowooza munne tabimanyi
209. Bimanywa nda : ng’omulenzi alidde ntulege
210. Bimanywa nda : omunaku tayogera by’alidde
211. Bimuyise ku nviiri
212. Binene : biseega
213. Binkutte akamwa : ng’akulooe wa mu nju
214. Binnyo birya : ye mugagga omussi w’ente
215. Bino byange na bino byange : omukazi alimisa nsimo
216. Binsanga wano : ze nnimi z’omukadde
217. Bintabira : biddira emmindi
218. Bintu bizibu okugaba : gw’owa enkoko atenda munnyu gwokka ggwe eyagimu- wa takwogerako
219. Binywera bye bigenda : omukazi yasiba embwa ya bba ku mugugu
220. Biriko akuluma : tibyegaanibwa
221. Birungi birekwa – – ( Ebirungi birekwa: )
222. Birungi okwogera : si birungi kuddamu (= okubiddamu kuzibu)
223. Bisatuuka : ng’omuwuulu ayita we balya bw’onootuuka eka nga bagimaze, onookola otya?
224. Bisenge bya muyiisa : tibiggwaamu mwenge
225. Bita bisigale : nga n’enkaaga alina ey’okubizzayo ku buko
226. Bitambulirwa
227. Bitannakala : tebisalirwa byayi
228. Bitono biggwa byokya : omukazi tabegera bba busera
229. Bitunda nnyinibyo
230. Biva nju : bidda nju
231. Biwedde mirembe, akabi kabule : akiina muyiisa
232. Biyita lukootezo : ng’akoza ettimpa
233. B’oluganda bye bita : bikoonagana ne bitayatika
234. Bubulwa mbwa amagunju gakinakkina (= gayinaayina)
235. Bufa magoba
236. Bugagga ntuuyo
237. Bugubugu – – ( Bbugubugu: ) ,
238. Bugya dda : bukuyisa ku malaalo ng’olya (or: ng’oyimba)
239. Bukaajumbe : anaabusereka akeera
240. Bukadde buwoomya ki? : ttooke
241. Bukadde magezi : takubuulira kyamukuza (= kyamuwangaaza)
242. Bukira obuzibu
243. Bukojjange bunjagala : ng’adda ku nnyoko waali
244. Bukula musaayi : nga bafumise ow’emitala
245. Bukulu bw’omu : kwesitukira
246. Bukumbu : enkuyege bw’eva ku ggi (= ng’ogusima ebbumba)
247. Bukundugga : ) nnyinibwo abusanga ) ne bukula
248. Bukya mbirya omunya guggiira ku nju (= mu ssubi)
249. Bukya n’ebigambo
250. Bukyawe bukira – – ( Obukyawe: ) Rub
251. Bulamu kye kiwango
252. Bulangasa : ng’obulago bw’emmese
253. Bulemeezi teva muto : eva musisiirwa
254. Buli ggwanga : n’ebyalyo
255. Buli gw’olaba n’akamyufu : ng’oyo yatabaalira Tororo
256. Bulikugwa : obukyala si bumbejja
257. Buli kulya : n’okwasama
258. Buli mukopi abeera n’ennyanja : olugira awungukidde awo
259. Buli museveni muwangaazi : agidde awone mu bitter
260. Bulinde buwere : yawanguza Buvuma
261. Buli ow’emmamba : asuuta yiye
262. Buli wanzina n’eyiye : Wajjenje azinya byoya, Wakikere mumiro
263. Bulungi si ddya
264. Bulungi si ddya : singa ekkajjoy’enjovu liwangiza Muzibu
265. Bulyake : si bwa jjo
266. Buliibwa mukalu
267. Bumpanga : ng’enkoko egula ettooke
268. Busa bwa mbogo : bukala kungulu
269. Busajja : bukirana
270. Busajja bwa nkuba : bw’agula omwenge, agula Ka-bantende
271. Busenze : bukala mmuli (Bukalammuli)
272. Busenze bunnemye – – ( Obusenze bwe bubula enswa: )
273. Busenze butta munaanya
274. Busenze muguma : bwe bukonnontera n’osongola
275. Busiru bwa njoka : butta nnyinizo, nti munaalamira mu ttaka? ( Ssebusiru bwa njoka: ) ,
276. Busolo bwa kuno – – ( Obusolo bwa kuno: )
277. Buswagu : oswaguza ne gw’olya naye
278. Butaka bw’abanaku : kiwaalo
279. Butalaga : nga njala
280. Butalima : buzaala enjala
281. Butamanyiira : bukussa n’omuyombi omukago
282. Butannaziba : tobusindirako (= tebukusinza) maluma
283. Butazimbye : bumanyibwa nnyinibwo
284. Buteeraba – – ( Obuteeraba: ) p
285. Buteewuliriza : bunyooza ennanga amatu
286. Butoola : ekibbo n’emmere
287. Buyisi bw’omu : bulangwa nsega (= nsega y’ebika)
288. Buuza ataakuldine : musumba wa mbuzi (= omuwa-butwa abuuza musumba wa mbuzi)
289. Buzaala enge
290. Buziba bweru : tebuziba mu nju
291. Bwa ddiba : buli afuluma (= bull muntu, = bull omu) asika wuwe
292. Bwakedde mpulira : bafumitira ku buliri
293. Bwakedde mpulira : bw’atabba n’asera
294. Bwangu bwa kuwa : bukuweesa alikumma
295. Bwangu na bwangu : ng’omutezi w’enkwale ky’ajje atege ng’ategulula
296. Bwatukeredde ku ntugu
297. Bwe babuulirira omwana wa boowo : ng’ow’omunaku okutu akunkumula
298. Bwe bakubuulira ennaku : ) ng’obalaata ) n’ozanjazamu kati
299. Bwe bambuulira, saatuula : nga lwali lwa mugagga
300. Bwe bayita abalungi : ayitaba
301. Bw’ebinda : si bw’etonnya
302. Bwe bukya : si bwe buziba
303. Bwe bukya : si bwe buziba enkoko ebuuza nnyina waayo omuziro
304. Bwe bukya : si bwe buziba ensega yatta n’Omuyima omukago
305. Bwe bumu : akuddiriza endwadde
306. Bwe gayita : bwe galya entanda
307. Bwe gull gwa bataka : gunadda
308. Bwe gutyo yazaala bwe gutyo : olukomera luzaala emituba
309. Bwe katagirya (kataligirya) : enkoko eribiika (erikookolima)
310. Bwe mubanga mulya enswa : temuzitendanga kuwooma, nga temunnasaasira nkuyege ezaabumba ettaka
311. Bwe ndi, bwe ndi : y’atunda abaana
312. Bwe nfanga, banfunyanga : omufu taluma
313. Bwe nkubuulira ennaku : ozanjazamu kati? (cf, Bwe bakubuulira: )
314. Bwe nkulabako : ndabye ku nsega ey’omuseera, kubanga erivaayo n’ekiwalaata
315. Bwe twenkana : abuulira abassi
316. Bwe weeteeba : akuleka mu kibira
317. Bw’eyinda : si bw’etonnya
318. Bw’oba omugezi ogeziwala : bw’oba omusiru osiriwala
319. Bw’ofumbira atakkuta : toyaya lusuku
320. Bw’ofuna omuto : olukadde lwo togoba
321. Bw’ofunda : nnakawere akuyita okulya
322. Bw’ogenda ebulya nkolo : toleka kambe
323. Bw’ogeziwala w’ogeziwala : bw’osiriwala ogajjulira ddala ebikonde binaakuyi-tako
324. Bw’ogoba musajja munno : embiro olekamu ezinadda
325. Bw’ogwa awabi : eyali munno akwerabira
326. Bw’okiina omukaba : weeraliikirira ky’anaakuzza
327. Bw’okuba ekitakaaba : ggw’okaaba
328. Bw’okyawa gw’oyita naye : weeyongera nnaku
329. Bw’olaba akukaabirako : naawe weeyongera okukaaba
330. Bw’olaba embwa ezannyikiriza ekiriba : ng’enaakirya
331. Bw’olaba emmese ng’esuna omutwalo : ng’ebinnya yasima edda
332. Bw’olaba nnamunye atubidde : ate ggwe ow’embuzi n’ogoba? ( Embwa bw’olaba: )
333. Bw’olaba omugenyi asookedde ku kyento : nga taagabe
334. Bw’olaba omukulu afungiza : nga ky’agoba kiriibwa
335. Bw’olaba omuwuulu aliko entumbwe : ng’asula mwa jjajjaawe
336. Bw’omalamu n’oguziika
337. Bw’omala okusesema mu mwenge : nti alinnyimba ndimutta
338. Bw’omegga omunafu : ossaako n’okuluma?
339. Bw’omu : buwola oluuyi
340. Bw’osekerera ekibya : osekerera yakibumba
341. Bw’osika (= osikirira) ekitajja : eddiba ly’enkoko oleka mmanju
342. Bw’otolya embuga : togejja
343. Bw’otonnava : toyonoona kisulo
344. Bw’otova ku mbuga : benawo oweebwa omusibe ataliiko kyayi olyoke omu-kuume
345. Bw’otova ku mulungi : ofa owoza
346. Bw’otoove : otonnana ogenda
347. Bw’ottottola ebya kyalo : bw’olwala w’abula akulumika
348. Bw’otuma abatadda : naawe ogoberera
349. Bw’owala ekitajja : eddiba ly’enkoko lisigala mu lusuku
350. Bw’oweeka gw’otozadde : oweeka asoosootoka
351. Bw’oweetuuka : w’oyagula
352. Bw’owulira oli ng’agarnba nti gobs embwa : nga mu kisenge eriyo ekyokulya
353. Byaffe biri : nga biragaane
354. Bya kagambwa : ng’omuwuulu anaatuuma nnannyinimu erinnya
355. Bya kulya kubula : bye bikuyisa mwannyoko omugenyi
356. Bya kuno bwe bityo : avuma bakopi
357. Bya kuno : tasenguka, agoba abajja
358. Bya mna : ) ng’emmese eridde ag’omuliriize ) ng’omubbi bamubbye
359. Bya mudduse : tebiddira ddala
360. Bya mu nju : bimanyibwa nnyinimu
361. Byanfudde bingi : agula mutwe gwa nte
362. Byangu okwogera : naye okubiddamu kuzibu
363. Bya nswakaba : ng’emmese by’erya mu kifulukwa
364. Bya nvumbo ebyo : bye biteesebwa mu kyama ababiri n’ababiri
365. By’ayogedde : omuwa-butwa ku nkoomi
366. Bye bakubuulira by’otowonga (= Bye bamubuulira by’atawonga) : nti lubaale anzita?
367. By’empulula : ng’omusale w’amatu ayambala amayembe
368. Bye ndabye mbirabye : ye mugenyi akkuta
369. Byenkanye : nga y’alidde ekikira obunene
370. Byenkanyenkanye : ) adda mu lusuku n’amala atoma ) Buzu ne Mmu ) ng’alidde ekyere ) ng’enkoko egula ettooke ) akamwano ku kizimba
371. Byeyuna mugagga
372. By’okulya kubula : amaaso tigakyawa luwombo
373. By’omuweereza : bye bigula omwenge
374. By’oyogera tebintama : nga kyajje amulabe
375. Ddamu mlire : ng’anoonya bya kutwala (or: alinda bya kutwala)
376. Ddayo ewammwe : si bulamu embwa Nnasirye gy’ekutukira olukuku
377. Ddaza mwoyo : ng’eridda mu nkovu
378. Ddiba : kkanda-bakunyi
379. Ddiba likaze : ennyomo zikolonge
380. Ddiiro : likunnaanya
Leave a Reply