Engero za Baganda eza – A – Luganda Proverbs prefix – A
1. Ababiri babibira ebigambo : naye abasatu babisattula
2. Abaddeko kizimu
3. Abafugibwa ngabo : atannagikwatamu ye agitenda obwangu
4. Abagagga n’abagagga baagalana : ekirevu kiyita ku bisige ne kigenda kyegatta n’enviiri eziri ewala
5. Abaagalana tebafunda
6. Abaganda bakaabira ekitali kyabwe : amaziga ne gajja
7. Abaganda baakalya olumanyo : buli ajja nti Nkonge wuuyo
8. Abaganda bamanyisa akataayonka
9. Abaganda busa bwa mbogo : bukala kungulu, sso munda mubisi
10. Abaganda kye bavuma kye balya
11. Abaganda mwennyango : bagweyokya balaba
12. Abaganda mwetooloola emiyagi : nti tuloga akafumbe
13. Abaganda nswa engabo bazisuuliranga ku mabega
14. Abaganda nswa : zeebikka kungulu
15. Abaganda nswenke : kasukusuku tikalina nkuyege
16. Abagenyi makondwe : agamu gasegulira gannaago
17. Abakadde ka batabaale : nga talina wuwe naye obanga alma, Abakadde bayinze
18. Aba-kali-buti baseka : naye aba-kali-maanyi bakaaba
19. Abakazi ndagala nnamu – – ( Abalungi ndagala: ) p
20. Abakondeere : bakwanya mikka
21. Abakopi mayenje : gagwa walime
22. Abakopi muwemba : bw’ogusaayira, kudda mulala
23. Abakulu balya bulungi : ye agwa n’olusuubo
24. Abakulu n’abakulu tibaleekaana : ) singa Nnamasole ayitiriza Mulere ) ekigere we kifuluma kiwakanya kinnaakyo
25. Abakulu n’abakulu tibaseerana mukubi (nva) : nga za mazzi (= nga si za munnyu)
26. Aba keno tebanjagala : nga ayambadde buzina
27. Abala ennage : ava ku emu (ng’aweza omuwendo gw’ayagala)
28. Abalamu baseesa gwaka
29. Abalamu magoma : gavugira aliwo
30. Abalenzi bagabega nga bagaaya : abaguliza omukazi
31. Abalenzi, mugawe ebyala : nga w’atwala w’afunze
32. Abali awamu : tibalema kuyomba
33. Abalirira ekigula (= ekyagala) enkumbi : tawa munne ssooli ddene
34. Abali wano : balwanira ebifo
35. Abalungi mbwa ya nnamaaso : bw’etebba n’eyigga
36. Abalungi ndagala nnamu : teziggwa mu lusuku
37. Ab’amaanyi babiri : ennyumba emu
38. Ab’amannyo amabi : Katonda b’awa ennyama
39. Abaami basatu : entebe emu
40. Abaana ab’omwavu : bakuza ab’omugagga
41. Abaana ba Kintu : tibaggweerawo ddala (= tibaggwawo kufa)
42. Abanaku bamanyagana : empologoma bw’erwala, ensiri y’erumika
43. Abaana tebakkuse : ng’alabidde ku lulwe
44. Aba n’ebingi ng’abimma : aba n’ebitono ng’abigaba
45. Abangi babi kulya : naye ku mirimo balungi
46. Abangi be batta ensonzi
47. Abangi bwe bakusiima (= bakwebaza) : ng’olubimbi luweze
48. Abangi tebawulira : wabula enkuba y’ebawuliza
49. Abangi tibasiimira ddala
50. Abangi : tiwabula atoma (= anyiiga)
51. Abangi we basimba olunwe : we kyabikira
52. Abantu balamu : bitooke bisalire tibyekwekebwamu
53. Abantu balamu : omwennyango bagweyokya balaba
54. Abantu balamu : tebeesigwa Jjunju bamutebuka okutta Mayembe
55. Abantu magoma – – ( Abalamu magoma: )
56. Abantu baseesa gwaka
57. Abantu basiima bakyagaaya
58. Abasajja mivule : giwaatula ne giggumiza
59. Abasajja nsolo : ezimu zirya zinnaazo
60. Abasajja ssubi : erimu lisiba linnaalyo (= buli erifuluma lisiba linnaalyo)
61. Abasa n’abasa : abatasinrjana mka (= tibaseerana)
62. Abatabaazi (or: ababaka) basula ku luba (= basula kumpi)
63. Abataka abaagalana : be balima akambugu
64. Abataka mbizzi : bakkuta ekiro
65. Abataka nkwenge : gw’olya naye ye akutta
66. Abataka tebeesigwa : omuntu enviiri z’azaalibwa nazo, bw’afa nga zivaako, ng’asigaza amannyo agaamera obukulu
67. Abatongole bikya bya mbuzi : tibyegaana mugwa
68. Abatono : balwanira mu ssanja
69. Abayita ababiri bajjukanya (= bejjukanya) : enviiri zikulaga (= zikutegeeza) engo, bwe weesisiwala
70. Abaziika abafu okumpi : be babaleetera okululuma
71. Abeegeyera ku nsiko : be bawa abataka empoza
72. Abeggami b’enkuba bagenze? : nkuwe erimonde lyo eddene
73. Ab’ekika bita : bikoonagana
74. Ab’emka ababiri : sibawala luga
75. Abeera awawe tabulako ky’akola : ekirevu kizina kirabye emmere
76. Abika atali wuwe : abika ayanjala engalo
77. Abikka ebibiri : tabojja
78. Abikka ku maddu : nti malako ompe eggumba nti ogenda kulyambala mpogo? He barely hides his desire : (who says) finish off the meat and give me the bone (question) do you want to use it as an anklet?
79. a Aboogezi abangi : batwala embwa mu katale
80. Ab’oluganda baagalana : nga bombi bali mu ngoye (= nga bonna bali mu mwera)
81. Ab’oluganda balimpolera : kazzi abola
82. Ab’oluganda bita : bikoonagana ne bitayatika
83. Ab’oluganda bwe bayomba : tossaawo kikyo
84. Ab’oluganda n’oluganda tibaagalana : essanja lyokya ebitooke
85. Ab’oluganda olaba nga basuulana embazzi : nga banaagikumma
86. Ab’omugumu baba bakaaba : ng’ab’omuti baseka
87. Abonaabona n’omulwadde : si ye amusikira enswa tezibuukira mu mpampaga-ma
88. Abuulira alowooza : asirika akira
89. Abumba mbi : assaamu n’ekibya
90. Abutise amatama : nga nnyinimu abba
91. Addinnana amawolu : y’agaggyako omukkuto (= y’agejjako)
92. Afudde kituyu : ng’amenvu
93. Afuna : aduula
94. Afuna abangi : tayombera kalali
95. Afuna eby’okuwola – – ( Funa eby’okuwola: ) Rub
96. Afuuye ennombe : nga talagaanye na bayizzi
97. Agabira abangi : abula gw’akkusa
98. Agafaayo? : tugasuula ku nsiko agammuka ge tunywa
99. Agafunda : gadda ku mwala
100. Agakuyunjira amangu : gw’oyita nnalyambe
101. Agalabagana : gatyannana aga Mbajja ne Mugema
102. Agalamidde : tabula gw’atta
103. Agali awamu : ge galuma ennyama ow’amalibu akiina wa ngereka
104. Agambagamba enfuuzi : y’agituubyatuubya
105. Agamyuka omutezi : ge gamyuka n’akasolo
106. Agaana bba : abula obugyo
107. Aganaalya n’agataalye : gonna ku nte
108. Aganaanyuma : tegalinda nnoma
109. Agaanyi mukama we : ng’alabye obugyo
110. Aganywebwa omuto : omukulu y’ayiwa
111. Agaasaaka ge gattula : ng’akuddako mulungi (= ng’omulungi azze ku mu-lungi)
112. Agatali maawule : gookya ngalo (or: gookya emimiro)
113. Agatataba : tegaluma nnyama
114. Agatawulira mukama waago : gabikka entembo
115. Agenda akaaba : tekikugaana (= tikikulayira) kumulagiriza
116. Agenda alira : tekikulobera kumulagiriza
117. Agenda e Bulyankolo : taleka kambe
118. Agenda ewaabwe : tazibirirwa budde
119. Agenda gy’amanyi : tazibirirwa budde
120. Agenda n’omulungi : azaawa
121. Agenda y’alaba : ow’ebbuba talaga nnaku
122. Agenekera : atuma asa
123. Agenze butasiibula : nga museveni
124. Agenze kafuuwuula mwu
125. Ageerwanyalwanya : gaba gaagala nnyini nnyama
126. Ageya akwagala : akuggya nnimi
127. Ageya Nnanfumbambi : yeeteesa
128. Should the one who got such a present not let the donor participate in the meal? Custom of kuddiza
129. Agobedde munya – – ( Ogobedde munya: ) Rub
130. Agoberera : y’asamba nga si gwe balese
131. Agudde n’agolokoka : nga mututuuli
132. Agwa mu kituli : ye mubbi
133. Agummye n’aguwanga : agenda lw’eggulo
134. Agya amangi : ye agamanya kye geddira
135. Agya erya nnammere : teyeekaanya bagenyi
136. Ajaganya ng’akimezezza okw’enjala : bwe siikoze nnaawuuta
137. Ajja ekisana : tasooka mukeeze kukyusa buwufu
138. Ajjanjaba omulwadde, si y’amusikira
139. Ajjukiza Busemba : y’agikuba
140. Ajjukiza : y’alwanya eggye
141. Ajooga omutaka : asookera ku bikajjo
142. Akabangala : nsigadde mu malye
143. Akaabidde mu babe : ng’alabye bamuwa
144. Akabi kaliva gy’oli : ng’omuntu akuba n’omusota omukago
145. Akabimbi akatono : kakira ekyosi
146. Akabi nga kanajja : lubaale akwata mukyawe
147. Akabi tekabula musombi : Kajabaga yasomba Abaganda
148. Akabi tikeekisa
149. Akabuzi akato tekeevumbulira ggenekere lyako? : ng’oli avuvuba omuto ku bibye
150. Akabwa ke weeyolera : ke kakuluma enteega
151. Akafa omukkuto : tikaluluma
152. Akaganda akatono : kakira mukwano (or: kakira ekkwano eddene)
153. Akagenda kalya : tikalaba nnaku
154. Akaggo akakuba muka balo : w’akalaba akakasuka
155. Akagoma akatono : kakutuusa ku ggoma ddene
156. Akagufa k’emmale : sikanyigirwa mu ttooke
157. Akajabangu akasengusa ennyonyi : ng’ewa musolo
158. Akajabangu ak’omubumbi : ) g’azimba g’ayokya ) w’asula watonnya, essubi n’alissa omuliro
159. Akajanja : kasimya omuwuulu oluzzi
160. Akajenjegule akazinya atanywa mwenge
161. Akajja obunaku keemanya : ejjanzi terigenda na nzige
162. Akakadde ak’obuggya : amaggwa gakafumita emirundi ebiri
163. Akakuli mu linnyo : tikaganya lulimi kutereera (= kwebaka)
164. Akaakyama amamera : tekagololekeka bw’ogolola omenya bumenyi
165. Akalagaane tekaggya buliika
166. Akalengule : kaalobera Ngobya okuzaala
167. Akaliba akendo : okalabira ku mukonda
168. Akalimi ka mwewoze : kajja kawewedde
169. Akali mu linnyo : tekaganya lulimi kwebaka
170. Akalina abiri : otega kalaba (or: olonda ejjinja kalaba)
171. Akalogojjo akasengusa ennyonyi : ng’ewa musolo
172. Akaluma munno : bw’okalaba okookya omuliro
173. Akalya amajjwa : ke kamanya bwe kagakyusa
174. Akambayaaya : akakabya nnamube kibe) eggulo
175. Akambe kaawaase – – ( Gwe baayogeddeko: ) Rub
176. Akamegga enjovu : kenkana wa! A thing that causes an elephant to fall : how small may it be! It is not strength (bulk), but cleverness that beats the mighty
177. Akaami akatono : ) kakira omumyuka ) okanyoomera mitala wa mugga
178. Akamira eyiye : ) taginyoola agamba, nti nnakiyumba gireke egejje ) tagiseera mata (= tagimma mata)
179. Akamwa kangu : kakuyitabya ow’ebbanja
180. Akamwa akangu : kassa nnyiniko
181. Akamwa kabi : katta Siroganga
182. Akamwa k’omuntu : si ka nte
183. Akanaafa : tikawulira nnombe
184. Akanajja : ne nkabojja
185. Akaana k’obulenzi : tokaweera mpindi mu ngalo
186. Akatabagano katta omutezi n’omwokyi
187. Akanatta obuguzi : kaba katono
188. Akanatta : tikabula muga
189. Akaneene bwe kaluma omuya : nga tekalumye ngalo
190. Akanidde nnyo : ng’akigoberera embuga
191. Akanyiigo akakwata embwa : omuyizzi takamanya
192. Akasanke kafuuyirira zirwana
193. Akasibe akabi : ke kaleesa ettambiro okumpi
194. Akasikwasikwa aka mbidde : bwe kakula kafuuka omwenge
195. Akasiriikiriro : ) kalwanya eminya ) kazaala embiro
196. Akasolo akatavumbuka – – ( Akatavumbuka: ) Rub
197. Akasolo kabaka ke yeebaagira : ettungulu
198. Akasolo tekannafa : nti Omukira gwa jjembe lyange
199. Akasubi kamu : bwe kava mu nju, tetonnya
200. Akasugga kagoba kisambu
201. Akasuka ly’ali nalyo : taba mutt
202. Akasukka (= akasusse) omumiro : nga tikakyabalibwa (= tekabalwa)
203. Akasuula obwoya : kakangula obusolo
204. Akatakenga : ke kafa omutego (akasolo)
205. Akatale ak’ettunzi : katunda bwesaanya
206. Akatale ka mmese : katunda keekuba ensiko
207. Akatali kabbe : eggumba osuula mu mulyango
208. Akatavumbuka : kalinda mbwa
209. Akataazimbe : emmuli kazitwala buklika
210. Akateesize : tekakuba bbiri
211. Akateeyanira : ke kafa omutego
212. Akatiko kaasa ettaka : ng’osima?
213. Akatono akatuuse : kakira ekinene ekisuubize
214. Akatono ak’omukwano : kasinga ekinene eky’empaka
215. Akatono kakuweesa ekinene
216. Akatono kazira mu liiso
217. Akatta : tekabula muga
218. Akawala kaatuma Kyabaggu omuliro
219. Akawe tikasiimwa wabiri
220. Akawuka akaali kakulumye : bw’okalaba okookya omuliro
221. Akawuulu akagezi : kagenda okunywa ogw’obusogozi, nga kamaze okweyalira
222. Akawundo k’emputtu : ) bakasalira mu muzinnoonyo gwa lulagala ) kage-ndera mu ndagala
223. Akawunguko : emmandwa mu bikajjo
224. Akaayanira omukwano : taliwa
225. Akayiira : kavunaana omuwendo
226. Akayiseeko amazzi tekakirwa : ejjinja erisula mu nnyanja, balinyiga ennoga? ( Akayitiddwako tuzzi: )
227. Akayitiddwako tuzzi tikakirwa : ejjinja lirikira obutta okugonda? ( Akayi-seeko amazzi: )
228. Akekkera – – ( Okekkera: ) Akaziga ka mmese : kajja n’ekimasu
229. Akazigizigi : kalitta eggye
230. Akendo we kawoomeza amazzi : we kaatikira
231. Akeesiga : ke kazaala ebbiri
232. Akeewaniko ak’amakobe – – ( Olimu akeewaniko ak’amakobe: )
233. Akeezimbira (= akeezimbidde) – – ( Keezimbira: ) l
234. Akiika embuga : amanya ensonga
235. Akikinadde : ng’eggabi ekkasuke omwambe
236. Akirimbye : nti Abalungi baagenda
237. Ak’obwangu : okalya mu nsawo yo
238. Akola bikolemu : ng’atikkula ava emugga
239. Akola (= akoze) bya mbyone : ow’obusa by’akola ewaabwe
240. Akombye mu (kikuta) kya kkobe : eky’ettungulu kiwoomerera
241. Ak’omulamu : si ka nte, nti gye yakaabira jjo ne leero
242. Ako nno katiiro : akatiiza embwa n’eggumba
243. Akooye : banyaga
244. Akoze bya mbyone – – ( Akola bya mbyone: ) p
245. Akuba abaana : bonna abakubira ddala
246. Akuba endeka-mwoyo : ng’addaabiriza ogwafa
247. Akubaguliza : oyagala wa kigwo? He is warning you (with a discreet wink) : do you want one from a wrestler? The wrestler gets hold of you and forces you
248. Akuba kulatta : nga nnyinimu abba
249. Akuba entungo tayogera : ng’alabye gw’atayagala
250. Akuba owuwe : Akuba awumba engalo
251. Akuba ssemukiti : ng’embwa eyogereza
252. Akuddira mu luyimba : talukuwoomeza (= takulongoosa)
253. Akufumbira ey’omutwe : omufumbira ya bigere
254. Akugoba : tabulako ky’akusuuza
255. Akugoba ye akuwa ekkubo (= ye akuwa amagezi) : nti Ab’emmanga, mbawee-rezza
256. Akujjukiza : akira akuvuma
257. Akukanga : tabula ky’akusuuza bw’atakusuuza malusu n’akusuuza eminyira
258. Akukeera enkya : ) bw’atakuzinga muggo, akuzinga bugenyi ) bw’atakuvu-ma, asunza
259. Akukeesa ekiro – ( Akutwala ekiro: )
260. Akukira eka : ne mu kibira
261. Akukola obubi : ggw’omukolera bulungi
262. Akukonedde : ebigenge ngalo
263. Akukongoola emabega : akuwa ekitiibwa (= akutya)
264. Akukongoola mu maaso : akulya bujonjo
265. Akukubira ku muggo : akwagaza bulwa
266. Akukuba mu liiso : omukuba mu kutu bw’agamba nti ondabye, naawe omu-ddamu nti ompulidde?
267. Akukuba omuggo omunene : akutenda nkaaba mbi
268. Akukyaye bw’awerekera akubanja : teweebaka
269. Akulabako akatono : akira alagiriza
270. Akulabira mu masannanzira : akuyita muyise
271. Akulembedde bw’agwa mu bunnya : ow’ennyuma toyitayo! ( Akulembera: )
272. Akulembera : y’akuwa amagezi
273. Akulira mu nda ya munne : tabulako ky’aggyamu
274. Akuliza maziga : omuliza omusaayi
275. Akulunza embuzi : omulunza ente (= maliga)
276. Akuuma ekitiko : y’akiggya
277. Akumanyi omuze : takuganya kwetonda
278. Akuuma omwami : akira akuuma ente
279. Akumazeemu amakulu : ng’akubuuliza ewala
280. Akumegga : takusaasira
281. Akumma ebijanjaalo : akuwonya embubu
282. Akunkumula omutwe : ng’embuzi etenda enkuba
283. Akunoonya ameewola : takunoonya masasula
284. Akununkiriza emka z’atabaddemu : ye kalwanira
285. Akuseera emisana : naawe omuseera ekiro
286. Akusigula : takugula
287. Akusindika okuwoza : akuwerekeza wanga
288. Akusinga eka : ne mu kibira
289. Akusokaasoka : akwogeza ky’osirikidde
290. Akusooka okunaaba : asooka n’okubega
291. Akussizza kasiiso : ow’endali k’assa omukukumi
292. Akusuubiza : akira akumma
293. Akusuutasuuta : akuliisa engo
294. Akutemyako : oyagala wa mbazzi? ( Akubaguliza: )
295. Akuutiri ne kuutiri : emmese terya kyuma
296. Akutwala ekiro : omusiima bukedde
297. Akutwala enkild : takusiibuza wa muliraano (= takuganya kuslibula wa muliraano)
298. Akutwala ettwe (= olutwe) : taba wa wala
299. Akuwa akatono : ) akira akumma ) akulobera okugeya ) akulobera okwe-gaana
300. Akuwa : gw’owa
301. Akuwaanawaana : akuliisa engo
302. Akuwaaniriza (= akuwaliriza, = akusuutasuuta) okulinnya : bw’ogwa (= bw’o-menyeka), ye akuyita Kadduwannema
303. Akuwa okubaaga : akuwa kulya
304. Akuwa okulya : y’akutwala omuluka
305. Akuweera omwana : akira nnakwagadde (= akuwadde eggaali)
306. Akuweerera ebigambo : akira akuweerera envuma
307. Akuyigiriza okutega : bw’otta tomuwa?
308. Akuyisa enkya : omuyisa eggulo
309. Akuyita emla : oyitaba mla
310. Akwagala : akubuulirira
311. Akwagala : akuzimbya ku lwazi
312. Akwagala n’akukyaye : kyonna kye kimu
313. Akwagala n’atakwagala : tebuziba nga tewannabula akwogerako
314. Akwalula esiridde : tayita wa ggwanga
315. Akwana : akira ayomba
316. Akwata emla : atuuka wala nnawolovu ow’e Bulemeezi omusanga mu Kyaddondo (= nnawolovu atuuka ku kibuga)
317. Akwata erya mukama we : n’erirye
318. Akwata munne : gwe batta
319. Akwatulira : akira akugeya
320. Akweyamba : omwana yeeyamba nnyina
321. Akwonoonera : naawe omwonoonera omuvubi ensonzi emusiiga ttosi, naye agisiiga vvu
322. Akyala : ye abigya
323. Akyaliisa ebijanjaalo empiso
324. Akyawuniikiridde : ng’alya n’omutabaazi
325. Akyogerako si ye akireeta : omukazi tayita njala kugwa (or: si ye akiyita : omukazi omunafu tayita njala kujja)
326. Alaba ebingi : alabunkana (= alabankana)
327. Alaba ekirungi : akinyumyako
328. Alaba waggulu : nga ndyanga
329. Alabye malinnya : amakka tagalaba (= amakka gabula)
330. Alagira kimu mu katale : taliira
331. Alangajja (= alatta) : ng’eyakasibira e Mbaale nti bwe kalifa ndikasanga
332. Alatta – – ( Alangajja: ) Munno
333. Aleka amaliire ge : asula enjala
334. Alembalemba : ng’omukulu anaasala ku njovu nti Awagwa ekinene watuuki-bwa nti Kabaka bwe yafa tewagenda
335. Aleeta en_nombo : y’agidibya
336. Aliba azze wa? : azimba ya nnyina
337. Aliba-tasaabadde : aligalengera nsanda
338. Alidde ggi : kwesubya muwuula
339. Alidde kya mukama we nga tasenguse : taba mubbi
340. Aliggala n’aliggula : bonna obusungu benkanya
341. Alikuliira omwana : omuteresa ntende ya taaba
342. Alikulyako omwana : ttooke lya mu kibya
343. Alima ndalo : tasiga bulungi
344. Alima ne bba : taba munafu
345. Alimu akambayaaya akakaabya : nnamube olw’eggulo
346. All mu bwato : annyulula banne be gasaanyawo
347. Alimu muyiira : talaalikibwa nga tanneesiisirira
348. Alina effubitizi eriyuliza omufu olubugo : nti emagombe agenda na maso?
349. Alina embwa : tasuula ggumba
350. Alina emwo : talagwa muliro
351. Alina kasiikuuzi : akakubya emmomboze eyajja n’ebigere byayo
352. Ali w’ali : w’alabira ebirungi n’ebibi (= w’alabira enjuba n’omwezi)
353. Alondobereza : ng’eyanyaga emu
354. Aloopedde muganzi mu kizikiza
355. Alootaloota olumbe : aloota ky’aliraba
356. Alowoolereza enkoko ky’erya : tagimaliriza ttooke
357. Alowooza (ekigula) enkumbi – – ( Abalirira ekigula: )
358. Aludde okutabaala : ensiisira alassa ya kibandwa
359. Alumirirwa : y’aggulawo
360. Alusaggya : ng’omuwuulu agula enkulo
361. Alwa ku katale : y’alaba ssentala bw’agwa (= bw’agenda)
362. Alya ku kirungi tamala? : bw’olya ensonzi, osula mu kitoogo?
363. Alya ng’eyasumattuka kkunsa
364. Alya : y’alula
365. Amabeere kirevu : n’omugumba agamera
366. Amaddira : ge gaamukwasa
367. Amafuta ga nte : gazze mu ddiba lya nte
368. Amafuta tigalwana na musana
369. Amagamaga : ng’aggye akamu
370. Amagenyi abiri : gatta ejjiba
371. Amagere ga nkoko : tegatta baana baayo
372. Amagezi ag’omu : gaakisa (= gaalesa) Magambo ku kkubo
373. Amagezi gakubuze : agabula ab’e Mityana
374. Amagezi gakuweebwa munno
375. Amagezi gakuweddeko : ) okubongoota nga tonneeyalira ) okufuluma n’oggalawo ) ng’ayombera gy’asaka
376. Amagezi gandi ku mwoyo : ng’omufuuwi w’ennombe
377. Amagezi gasalwa luvannytmta : enkonge emala kukukuba n’obuuka
378. Amagezi muliro : bwe gakubulako okima ewa munno (= bwe guzikira oguggya wa munno)
379. Amagezi nsejjere : buli efuluma emmula bwayo
380. Amagezi ntakke (= nswa) : ekula y’ebuuka
381. Amaggwa g’otega abayise : gafumita ggwe nnyinigo
382. Amagoma gavuga – – ( Magoma: Abantu magoma: ) III
383. Amagufa : tegaweerezebwa
384. Amaka abiri musango : olwanirira agali e Kyaggwe n’ag’e Ssingo baganyaga
385. Amaka galadde : agula muwemba
386. Amala gateeba bw’ayigga : avaayo bukumbu
387. Amala geebikka : asula mwo, tagenda kuwona ssennyiga
388. Amalala g’omukyaze : ) nti banziriza olulimi, siigende ) nti nsanze olubende, nnaalyayo obugenyi
389. Amalaalo ag’omugagga : gafuga ag’omwavu
390. Amala okufuna : nti oluggya lukala mbuzi
391. Amala okugwa : lw’amanya bwe yandiyise
392. Amala okukivaamu – – ( Akivaamu: ) p
393. Amala okulya : ewaffe bamta
394. Amala okusomoka : yeerabira eyamusomosa
395. Amaliire si gamu
396. Amaluma : si njala (= gakira enjala)
397. Amaluma tegeegombya njala
398. Amalume abiri : tegabeera mu lugo lumu
399. Amambulugga gajja kiro : ag’emisana galuma (= ge gatta)
400. Amamese amangi tigeesimira bunnya : nga tiwali njangwa
401. Amampaati aga nnyini nkoko : nti enkoko zange zibuukira omuyagi nti ente esinga obunene ebuuka emituba
402. Amamati ageegoloza omukadde : ng’agenda kukula (or: sso nga takyawanvu-wa)
403. Amansonyinsonyi : gassa olugave
404. Amaanyi amatono : gakugabanya otulo
405. Amaanyi ameemanye : ge gamala ebita e mbuga
406. Amaanyi gampweddeko : ng’omusajja azaala
407. Amaanyi ga nnabugi : gamukubya akyali muto
408. Amaanyi gava mu kulya
409. Amaanyi g’endiga gagiva mu mukira
410. Amaanyi tegawala luga
411. Amaanyi tegalya bwami : singa ennaana ye kabaka w’ennyonyi
412. Amaanyi tigalya : ennaana terya nkoko (= singa ennaana emazeewo enkoko)
413. Amasavu g’ennaana : gasaala ekka kibira
414. Amasavu si mugabano : ow’amaanyi ng’aganyaze
415. Amasaawa : si malima
416. Amasiga tegagwako musulo
417. Amasika ngabo : tigalema
418. Amaaso agalwa : ku mutwe gatikkira engule
419. Amaaso amabi : tigayiwa tulo
420. Amaaso amati : galamusa nnyinimu
421. Amaaso batadde ku gwaka : ne beerabira ogunyooka
422. Amaaso gajjirira omu : galaba bangi
423. Amaaso gamwesimbye : ng’ag’enkoko enywa mu lwendo
424. Amaaso ge gatya
425. Amaaso g’enjala : gatuukira mu lusuku
426. Amata g’ennyana – – ( Ga nnyana: )
427. Amatama mangi : tigabaamu bugenyi
428. Amatambulire : tigali wamu
429. Amatole amanene : teganyaga mwana
430. Amatu ag’emputtu : gakubya nnyinigo
431. Amatu baagateekako kuwoomya mutwe?
432. Amatu g’omubaazi gawulira kya embwa etwala ennyama yo : omusaba taku-wa
433. Amatu mulimu amazaana? : gohna maami (= matongole) (or: timubamu mazaa-na)
434. Amatu tigalya maluma
435. Amawolu : galiibwa mujjukiza
436. Amaawule :ge gawola tigookya mutima
437. Amayumba bisaka : tomanya bibaamu
438. Amazeeko nga muwogo : waggulu nva, wakati nku, wansi mmere
439. Amaziga amaggya : gajjukiza amakadde
440. Amazina g’ekirevu : gajjira ku mmere
441. Amazumwe (= amazuuku) : nga nnyina mwami azaala omwami
442. Amazzi amatono : gabooza ente nti baleete ez’abaana zimale okunywa (= nti leka enzadde zinywe)
443. Amazzi bwe gakalira : gadda ku mwala
444. Ambuzeeko n’empuluwujju
445. Amegga omunafu : tassaako mannyo
446. Amuguddeko akayiifuyiifu : omugole ku nkyakya
447. Amukubye akakule : enkuyege k’ekuba essabo
448. Amussizza kasiiso : ow’endali k’assa omukukumi
449. Amuvuddeko bukumbu : ng’enkuyege ku ggi
450. Anaabulwa omwana : anaaweeka ejjinja
451. Anaggula omunaku amatu : wano waliwo kitaawo ne nnyoko
452. Anaakuboolera mu lumbe : nti ggwe wa maanyi
453. Anaakuggya ennimi : ageya nnyoko ng’olaba (= nga w’oli)
454. Anaakugoba embuga : nti omwami yeesaze akajegere
455. Anaakugoba ku nswa : nti tolya omulalu
456. Anaakulyako omwana : ayogera kiganda kyennyini
457. Anaakulyamu olukwe : akugwa mu kifuba
458. Anaakuliisa akasolo akabi : akalya akabeera (= akawaana)
459. Anaakusengezzesa omuto : nti wano tegusukkawo
460. Anaakussa ekkande : kasooli wa kuno tayera, awunda
461. Anaakusiba olumbe olumbe : nti yaluggya wala nti we lulema tossa wansi?
462. Anaakutiisa embuga : nti omwami yeesaze akajegere
463. Anaakuttira amaka : nti ogunnema gusula bweru
464. Anaakuvuma obubi : akubuvumira ku ndwadde
465. Anaakuvumira mu magezi : avuma mwana (= akuvumira mu mwana)
466. Anaakweggyako : tabula ntondo
467. Anaamukuteerako : omulabira ku kimyu
468. Anaanyumya takeereza : nnamunyi oluva ku nju ng’ekireka akuba
469. Anaaseera owuwe : ) nti leka ab’ebweru balye ) asala akiika
470. Anaatera okumala : akoza avulunga
471. Anaatera okuyomba : tabula njogera ye
472. Anatta enzige : asooba
473. Anaatuubya engo : embuzi asiba ku luzibaziba
474. Anaawangaaza obuliirize : omunwe alya gumu
475. Ani alimumpeera? : awa wa kibungu
476. Anneegobyeko : ssemukuto ball ba mayenje
477. Anneesibyeko : ebigalanga ku mulwadde
478. Anneesulubabbye : nga nnasswi w’embwa
479. Anyumiriza eggunju (= effumbe) aliriisa omwami
480. Anziriddemu : nga Muteesa Walugembe bwe yaddira mu b’obugulu obutono nti mmwenna mwambale empale empanvu
481. Asaba ndikulaba : ng’asaba eryenvu erimu
482. Asaba omunafu : asaba atoola
483. Asagambiza : ng’akimezezza okw’enjala
484. Asagaasagana : nga bbunwe w’omukovvu
485. Asamirira amaddu : ayigga mbogo
486. Asaasira omunaku : y’amuliza
487. Aseka ekimwegeru : engalabi ky’eseka n’emiti mu kamwa
488. Asemberera kabaka ye muwangaazi : ennongo emera mu kiswa enkuyege tegirya
489. Asenga atuusa : y’anenya banne (= abatannaba kutuusa busenze)
490. Asenga ku kiggwa : y’akumira lubaale omuliro
491. Asenga omwami : tagayaala, amukolera (or: atema ebisaakaate)
492. Asenga tagayaala
493. Asenguka : akwaliza bisulo
494. Asiba mu mbuzi omugwa : gwe babanja
495. Asiibula nga muyala : weeraba tata
496. Asigadde mu gw’e Busami : Nneemagaza
497. Asiika obulamu : tassa mukono
498. Asimaasima akatiko : y’akaggyako omukonda
499. Asimba emisogasoga : teyeegaanya mayiba
500. Asimba kasooli : tamulya makoola, amulinda kwengera
501. Asimira embwa lumonde : gw’etwaza
502. Asinzidde ku ssinzi : n’asaba ekkobe
503. Asirika amanya : ekikere baldbikira mu kyeya ne kikaaba mu nkuba (or: eki-kere bakibikira kwa musana, kikaaba kwa nkuba)
504. Asirikirira : tabula ky’akola
505. Asitukiddemu : ng’atega ogw’ekyayi
506. Asobeddwa : ng’ayomba n’ayonsa
507. Asooka okufuna : yeerabira (= tamanyi) munne by’alifuna
508. Asooka okwekweka : atenda banne okukwakwaya
509. Asse aga n’aga : ng’agula omugumba omunafu
510. Asubwa obwami : tiyetta
511. Asuddeko : omulimiriza (omulumiriza) ku kkobe
512. Asuddeyo gwa Nnaggamba
513. Asugumbira entalo : y’azifiiramu
514. Asugumbira okulaba ensolo : gw’erya
515. Asula obubi (= awabi) : omulabira ku nkeera
516. Ataabalamule : nti baleke baggwekerere
517. Atabalira nnyina : talemerwa
518. Atabyetisse : tamanyi buzito bwabyo
519. Atafiiriddwa wuwe : agamba nti Iumumenye
520. Ataafiirwanga ggole : agamba nti libongoota
521. Atagala ng’obusajja bw’e Bulemeezi : bulekerera okulwanira enswa ne bulwanira envubo, nti Envubo eno ggwe wagisima?
522. Atagukwanye : (ye agamba) nti banaakitiza! (= balina akatinko)
523. Ataagunjule wuwe : agunjula muzaana
524. Ataguyiisizza : y’agunenyeza munne, nti agummye n’aguwanga
525. Atajjukiza mugagga : alina ky’aliira
526. Atakedde takedde mukeeze : kuzzaayo buwufu
527. Atakirambudde : y’akiyita ekigumba
528. Atakirya : takimanya buwoomi
529. Ataakiweereza : y’akiyita ekitunzi
530. Atakubalira : naawe tomubalira ennyanja ekutta omizeeko
531. Atabukubuuza : abukuzimbiriza
532. Ataakulaba : akunyooma
533. Atakulabye : takubala
534. Atakulekera : naawe tomulekera ennyanja ekutta omira
535. Atakulongooseze : y’agamba nti kinaamala
536. Atakumanyi : azikuyooza mu mulyango
537. Atakumanyi busajja : lumonde akuwa mumenyemu
538. Atakusonyiwa : naawe tomusonyiwa ennyanja ekutta omira
539. One who does not forgive you : you don’t forgive him either the lake kills you, whilst you are drinking (its water in drowning)
540. Atakuta mukono : akusuuza ebya beene
541. Atakuzadde : akutikka ejjinja
542. Atakwagala : akumanyiiza eky’ekibuga
543. Atakwagala : ky’asanga ky’akutema
544. Ataakwalize nnanda : akulaga kifo, nti oyo agenze muganda wo
545. Atali muzimbi : emgi bw’emukuba, tewaba musango
546. Atalina maanyi : tagwa ddalu
547. Atalina muka mwana : yeekaamwana yekka
548. Atali nnyini mwana : tamufiirira
549. Atali nnyoko : ) akulaba mu mutwe, eyakuzaala akulaba eri olubuto ) aku- wa nsigo ng’omwaka gugwako ) takugerera nnaku za bukulu
550. Ataliiwo : tagwirwa mutt
551. Ataliiwo : y’atta embogo
552. Ataalugende : entanda akusibira ya menvu
553. Ataalukutambulire : akusibira ya menvu
554. Atamanyi bifa ku mwoyo gwa munne : enkumbi afulumya bbiri
555. Atamanyi bikiinwa : bwe bamuyita okulya ng’asembera
556. Atamanyi bikiinwa (= bisaagwa, = kusaaga) : emmese bw’emusaba ekigwo, atoola musanvu kukuba
557. Atamanyi busungu bwa muddugavu : amutikka entamu
558. Atamanyi bya kusaaga : emmese bw’emusaba ekigwo, addira muggo
559. Atamanyi liiso bwe liruma : anyiga mu ly’emmindi
560. Atamanyi mpewo y’emagombe : olusanja ajja na lumu
561. Atamanyi mwo y’emagombe : y’amma omufu olubugo
562. Atamanyi nnaku : y’agamba nti Baagenda kusevena, sso nga baagenda kutu- fiirira
563. Atamanyi : tamanya nti tamanyi
564. Atambula sserebu : ng’eyakwana ogw’okum
565. Atambula : y’abiraba
566. Atamukedde : y’amutenda endya embi
567. Atamukutte : y’agamba nti mutenge, tugende! (or: nti megga, tugende!)
568. Atamuzadde : amutikka ejjinja
569. Atamuzadde : amutunula mu mutwe naye amuzadde amutunula eri olubuto
570. Atamuzadde : y’amukuza
571. Atamwa omukwano omukadde : nga n’omuggya aligutammia
572. Atangaaliridde : ng’azadde ekifudde
573. Atannabambula : tomuyita kabaaga-mbwa
574. Atannafa : tiyeevuma ggwanga
575. Atannagula : tayisa lutala
576. Atannaguzza : y’aseka (or: asekera aguzzizza)
577. Atannakoma kulambula : tamalamu bya kutenda
578. Atannasesema : ye yeetenda okugonza
579. Atannayita : y’atenda nnyina obufumbi (= okufumba)
580. Atannaziraba : y’asekerera ajeera
581. Atasaba taweebwa : enkoko oluba okunywa amazzi ng’eralamira waggulu
582. Ataasa omuto akambe : amuwa kati
583. Atasaasira mwavu : ageya mugeye
584. Atasasula mabanja ) amaaso aganaabira mu nsiko ) abanjirwa mu kikunta
585. Atasenza bantu : bamuwa ddagala, alyoke asenze
586. Atasenza : omusu sigulya mwami
587. Atava ku mbuga bamuwa omusibe atalina muguwa
588. Atava ku mulungi : afa awoza (c
589. Atava ku nnyama : asala eddiba
590. Ataawone bwavu : ) agula wa mutunda-bikadde ) asuubula magi
591. Atawulidde : taloo mbuga
592. Atayombera mukwano : nga munne tamwagala
593. Atazimbye ku luzzi : alya olw’eggulo (= emmere alya lwa ggulo)
594. Atazze mbwa ye kum : nti eyange eyigga n’ekiro
595. Atega emingi : atega ategulula (= tanyaata)
596. Atega ogumu : taliira
597. Atengejja : ng’asaba oluwanga obulamu: nti ye oyo ekyamutta kyali kiki? ( Otengejja: )
598. Ate tuwakanire ebaagwa? Nti munda mulimu ento? Tulinde tunaalaba
599. Atta ekizigo : asooba
600. Atta munne : gwe batta
601. Atudde entitibbwa : kabootongo z’atuula mu mumwa
602. Atudde katubidde : ng’embwa bw’etuula mu lumbe lwa nte
603. Atudde kitebe : enjala ky’etuula mu lubuto
604. Atudde kiyaziyazi : omugumba ky’atuula ku mbaga
605. Atudde obukonge : Ndawula bwe yatuula mu Butwala
606. Atuuga akatale : tabalirira balema
607. Atuli mu ttaano : ekkumi likwata mpaawo
608. Atuma omukulu : tamagamaga
609. Atunda ayolesa : y’atera okumaza (= okumalawo)
610. Atunda omutwe gw’ente : amala kunyiga ku gugwe
611. Atunula bakim nkirye : ng’abali emiryango tebakyagala
612. Atunula baakitujjula (= baakitijjula) : ng’emmanvu (= ng’engalabi) eyoza lu- monde
613. Atunula gamyansa : ng’omufumbo amira agookya
614. Atunula kalyolyongo : ng’embwa eyota ekikoomi
615. A
Leave a Reply